back

 SHIA NE BYAMAGERO BYA BA IMAAM

next

 

Omuwandiisi agamba nti : Ebyamagero mu busiramu byeyawulidde ba Nnabbi naye ate eri abashia sibwekiri, kuba abashi-a bakakasa okuba nti ba Imamu babwe balina ebyamagero nga bwekiri ku ba Nnabbi.

Tugamba nti : Ekyemagero kyekintu ekibaawo nga kyawukana nembeera emanyiddwa eyabulijjo, oba kyekintu ekimenyawo embeera eyabulijjo emanyiddwa, nekibanga kikwatagana nensonga ya nannyini kyamagero gyaba akireteddeko, olw’okugera kwamukama Katonda ekyemagero nga bwekisoboka okuleetebwa ba Nnabbi nabwekityo kisoboka okubeerawo ku baddu bakatonda abolongoofu, ng’era Qur-ane bwetutegeeza kunsonga eyo, ebyokulabirako, (1) ekyafaayo kya mariyamu (a.s) (2) Ba As-haabul kah-fi (Bannanyini mpuku)  (3) A-swifu Ibin Barikhaya, eyaleeta namulondo ya “Bilkiisi” mu lutemya lw’eriiso, eyo yenjigiriza ya ba Imamiyya, (Aba shi-a) abegattibwako ebenjigiriza ya ba Asha-ira n’abamu ku bamu-Utazira.

Nekyetufunamu, kwekuba nti ebyamagero tebyeyawulidde ba Nnabbi bokka ng’omuwandiisi bwagamaba era tewali kiziyiza ba Imamu kuba n’abyamagero olw’okukakasa obwa Imaamu bwabwe olwokusaasi okuva eri Katonda ow’ekitiibwa.

Era kyakakasibwa okuba nti ba Imamu balina ebyamagero mubyo omwali n’okutegeeza abantu ebiribeerawo mu biseera by’omumaaso ate nebituukirira, (Soma ekitabo saluuni qabla an- tafkiduuni, ekyawandiikibwa Muhammad Rizah Al-hakiimi, ejjuzu: 2 Olup. 176 ekyakubirwa maktabat Swadri Tehran omwaka, 1400 A.H,) mukyo Imamu Ali (a.s) mweyategeereza abantu nti “mumbuuze nga sinnabavaako kuba temuyinza kumbuuza wadde kukibinja ekyokubuza abantu ekikumi, wabula nga nina okubategeeza nanyini kukitandikawo n’owokukikulembera munirembe gyonna okutuusa olunaku l’wenkomerero.

Era Imamu Ali bweyogera okuttibwa kwa Dhi-Thadiya, mu ba khawaariji, n’okubambibwa kwa Maithamu Attammaari, n’amulaga n’omutende kwalibambibwa n’okuttibwa kwa mutabaniwe Hussein (a.s) E kar-bala, nebirala bingi byonna nebituukirira oluvanyuma.

N’olwekyo tewali kigaana Imamu kuba nakyamagero mu buwandike nemukulamulwa kwa magezi.

Omuwandiisi agamba nti : Okussibwa kw’obubaka mu busiraamu kweyawulidde ba Nnabbi bokka, naye ate abashi-a bagamba nti ba Imamu babwe bassibwako obubaka mungeri yemu nga ba Nnabbi.

Tugamba nti : Okukonjera okwo tumaze okukwanukula gyebuvuddeko emabega, okwongera kwebyo, ba Imamu baffe tetubayita ba Nnabbi era obwa Nnabbi bwokomekkezebwa na Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) ngera Qur’ane bwetutegeeza (“...Okujjako okuba nti (Muhammadi) mubaka wakatonda era Nnabbi owenkomerero”) (Surat Ahzaab - Aya: 40) era Nnabbi kenyini alaza kunsonga eyo mu hadiithi egamba nti “Owange Ali gwe gyendi oli mukifo kya Haroona eri Musa wabula okujjako nti tewali Nnabbi yenna lukanyuma lwange”.

Soma: Swahiii Muslimu, Sharhe- nnawawi ejjuzu: 8 Olup. 175, Twabu-a darul - Fikri, Beiruti.

Oba Swahiihir-Bukhari, ejjuzu: 4 Olup. 162 mu kitabul-magaazi, Darul-m’arifa Beirut.

Ne Musnad Ahmad Bin Hanbali ejjuzu: 1 Olup. 178 / Nejjuzu 8 Olup. 32 olabe Hadiithi eno.

Wabula ffe tugamba nti ba Imamu basigire ba Nnabbi abaakuuma eddiini obutagyonoona, Nnabbi yatutegeeza nti bebasigire be oluvanyuma lwe naye ekyo tekibafuula kuba ba Nnabbi, era tukakasa nti ba Imamu tebassibwako bubaka nga baNnabbi, kale omuwandiisi atuwe ekitabo mu bitabo byabashia webogerera ensonga eyo.

Et’era kimaanye nti omuwandiisi ono alimbisa Qur’an mukumanya oba mu butamaya, bwagamba nti obubaka bussibwa ku Nnabbi yekka, kuba Qur’an etutegeeza nti Katonda yayogera na Malaika, Malaika neyogera ne Mariyamu, Katonda agamba nti :-: “JJukira malika bweyagamba nti owange mariyamu Allah akulonze nakutukuza nakwawula kubakyaala abalala bonna”. (Suratul - Ala - Imrani: 42) ne Aya endala:. (Suratul - Ala - Imrani: 45) (Suratul Mariyamu Aya 16 - 90.

Oba kukyafaayo kya maama wa Nnabbi Musa Katonda wagambira nti : “...Nenzisa obubaka eri maama wa Musa nti muyonse....” Surat Kaswaswi, Aya 7.

Ne mu (surat Twah, Aya 37). Kale ngeriki omuwandiisi bwayinza okuwakanya ensonga eringa eyo!!?. Okwo tekuba kuwakanya Quran nakulimbisa kitabo kyakatonda!!?.

Omuwandiisi agamba nti :Omumanyi Twabatwa-i agamba mukitabokye nti. Ba Imamu newankubadde tebafuna kipya

(Kuva eri Katonda) naye ebigambo nebikolwa byabwe bijjuliriza, bigambo na sunna za Nnabbi ba Imamu oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w)... mungeri yokulamula n’okulungamya...

Tugamba nti : Kyandibadde kirungi omuwandiisi najjulula ebigambo bya (Twabatwaba-i) mubujjuvu oluvanyuma nalyoka alaga obukyamu obubirimu ssosi kuleeta bigambo byankuggu, nalekayo ebimu, ekyo kiba kyonoona amakulu gabyo, wamu nekyo, tumwanukula nti ba Imamu ssiba Nnabbi nga bwetuddigganye wabula obuvunanyizibwa bwabwe kuyigiriza bantu mateeka kuba kimanyidwa bulungi nti mu bantu mwalimu abaali bakasiramuka nga kyetaagisa wabeewo anabayigiriza oluvanyuma lwa Nnabbi era abaluggamye, nga n’omusomesa asaanidde abe nti amanyi bulungi era nga ategeera amateeka g’obusiraamu, at’era kimanyiddwa nti mumirembe gyonna ba Imamu bwebwaali obuddiro bw’abantu mu kumanya amateeka gakatonda, ngera mumirembe gya ba swahaba Imamu Ali yayali obuddiro bwabwe, okutuusa ne Umar bweyagamba nti :-

“Singa teyali Ali Umaru yandizikiridde” soma Yanabi-Ul-Mawadda, ejjuzu: 2 Olup. 227.

Ate mu mirembe egyaddirira ba Imamu okuva mu zadde lye, neba tuukiriza obuvunanyizi bwa bwebumu, mubo mwemuli Imamu Swadiq, eyalina ettendekero omwali abayizi enkuyanja okuva mu buli mpuyi zonna mubayizi abo mwemwaali ne Imamu Abu-Haniifah, nga yasoma gyali emyaaka ebiri era nagamba nti :- “Singa tegyali myaaka ebiri Numani yandizikiridde “(Imamu Swadiq wal-madhahihul-Arba-a, ejjuzu: 2 Olup. 70).

Omuwandiisi yagamba nti : Mubutuufu singa oba ogeragaranyizza ebifo bya ba Nnabbi ne ba Imamu okisanga nti tewali njawulo, era obwa Nnabbi eri abashia bukyagenda mumaaso era kuludda lwabwe babuyita bwa Imamu, naya nga mazima abashia tebaawula wakati wa Nnabbi na Imamu.

Tugamba nti :Tetumanyi muwandiisiki ky’aliko, era tetumanyi kigendererwa ki ky’alina mu kutujwetekako ensonga enkyamu jetutakkiririzaako ddala n’akatono, songa tukiddigganye nti obwaNnabbi bwakomekkerezebwa na Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) era ba Imamu baffe si baNnabbi naye omuwandiisi mukitabokye agezaako nnyo okutusibako ensonga eyo enkyaamu, tetumanyi lwaki !!?.

Omuwandiisi agamba nti :Bwetuba twetegerezza empagi z’eddiini twesanga nti enjawulo neyolefu wakati w’abashia naba sunni, kuba abashia bakkiriza nti ba Imamu babwe bafuna obubaka (Okuva eri Katonda) nga enjawulo eri mu manya gokkaImamu - na Nnabbi).

Tugamba nti : Omuwandiisi era azzeemu okukuuta akadingidi ngaleero aleeta n’ebigambo webita saanira nga nensonga eyo tugyanukudde emirundi nfaafa, naye singa kiri ng’omuwandiisi bwabisala kiki ekyanditulobedde okubayita ba Nnabbi netubayita ba Imamu kyokka?? kale on’omuwandiisi tayinza nakukwaatibwa nsonyi ng’abadde awaayira banne awatali kiraga wadde obujulizi. Okwongera kwebyo, obushia bwasaasaanira ensi yonna, wali osanze omushia asaala ng’ayolekera etali Qaaba (Qibla) ?! Oba okulamaga etali makka, eyekitiibwa? Oba okusiiba omwezi ogutali gwa Ramadhani, oba okufunyisa ewudhu agatali mazzi? Oba ensinza yabwe (Ibaada) eyawukana ney’abasiraamu abalala? Naye ate okubeera n’o busonga obutonotono obwawukanibwako, kintu kyabulijjo, ekiva kukwawukana kwendowooza nenyinyonyola ekitasaanidde kutuusa muwandiisi kukigezza nakuwayira bitaliiwo.

Omuwandiisi yagamba nti: Oluvanyuma lw’okun-yonyola okwo aba-Ahli Sunna wal-jama-at, basaanidde bakimanye nti enjawolo eri wakati waba shia naba sunni teringa eyo eri wakati wa madhehebu a-ana nga abamanyi ba bashia bwebagamba.

Tugamba nti : Omuwandiisi ensonga eno yabadde yagyogeddeko dda, era netugyanukula, okwongereza kw’ebyo, enjawulo wakati wa madhehebu w’eri soma ekitabo  (Al-Imamu Swadiq, Wal-madhahibul - Ar-baa) ejjuzu esooka: 1 Olup. 187 -206) werolere, ngeera nekyogerwa abashia nti enjawulo eri wakati wabashia naba sunni eringa eri wakati w’amadhehebu (4) ana, sibinafu bwanyinyonyola wabula kukuuma bumu bwabusiraamu buli musiraamu asome, era agoberere kyonna kyaba asazeewo nga kituufu mukumanya kwe nga Katonda bwatutegeeza nti “...Aboabawuliriza ebigambo neb’erera-mu ebisinga obulungi) Surat Zumara Aya: 18.

 

 

 

Index