Taata yagamba nti olwalero ngenda kunyumiki za kumusayi ogujja oluvanyuma lwokuzala (NIFASI)
q Nifasi kyeki?
- Musayi omukazi gwalaba nga azaala oba oluvanyuma lwokuzaala kulwensonga yokuzala kati omukyala mukiseera ekyo ayitibwa: Nufasau.
q Nifasi amala bangaki?
- Obunji bwanifasi ziba naku kumi.
q Ate mubutono?
-Tekuli kikomo mubutono.... guyinza okuba muyitirivu ate guyinza okuba omutono okusinga ko awo.
q Abo abachala balina enjawulo munifasi?
-Nifasi alina emiteko esatu buli muteeko gulina okulamulwa kwagwo.
1- Atasussa naku kumi nga avamu omusayi.
q Alamulwa atya?
- Ebbanga lyamala nga avamu omusayi gubalibwanga nifasi.
2- Ayisa munnaku ekkumi nga avamu omusayi atenga alina haizi wamirundi mingi alina ebikomo nga okuba haizi we amala ennaku tano(5) buli mwezi.
q Alamulwa atya?
- Kwekubala ebanga lyaberamu ne haizi nti nifasi mungeri esose.
q Ate ennaku ezisigaddeyo?
- Azibala nga ekikulukuto ekyalalo.
3- Ayisa munnak ekkumi nga omusayi gujja, nayenga talina haizi wamirundi mingi gyeyawulidde.
q Alamulwa atya?
- Okulamulwakwe kwekubala ennaku kumi nti nifasi.
q Bwebaba nga abalina nifasi bali na emirundi mingi mu haizi, kati omusayi gwa nifasi negusukka ennaku za haizi nga naye tamanyi abaffe omusayi gunakutuka nga ekkumi terinawera oba gujja kugenda gususse mukkumi?
- Kimusobozesa kuleka ibada okumala ennaku kumi, omusayi bwegukoma agubalanga nifasi ate bwegusukka munnaku ekkumi anaaba naakola emirimo gyowe kikulukuto.
q Ate ebbanga eriba wakati wa haizi nennaku ekkumi ziri mweyalekera ibada?
- Azibalanga kyalalo, naliwa ebyamuyitako mumirim gya ibada.
q Singa omusayi gukoma mulunaku olusoka ate negukomawo gukutuke omulundi omulala mulunaku olwekkumi oba mulunaku olalala....?
- Okujja kwomusayi ogusoka nogwokubiri byonna bibeera nifasi.
q Ate ebanga lyobutukuvu eryawula wakati wanifasi ebbiri?
- Okulamulwa kwalyo kwekugatta emirimu gyobutukuvu munnifasi nebyo ebirekebwan nabakyala banifasi.
q Omusayi bwegukutuka, negukomawo, ate bwegutyo nayenga emirundi gyonna tegususse nakukkumi?
- Ennaku zomusayi zonna guba nifasi naye ennaku zobutukuvu agattiramu emurimu gyobu tukuvu nebyo ebirekebwa naba nifasi.
q Abakazi banifasi bwebajjuza nifasi wabwe, ate nalaba omusayi oluvannyuma lwakyo?
- Buli musayi owanifasi gwalaba oluvanyuma lwokujjuza ennaku ekkumi nebyeyongerako byonna bibalibwa mukyalalo sinsonga omusayi ogwo gulina ebitendo bya haizi oba tegulina oba gubamunnaku zahaizi oba nedda.
q Kiki ekibalibwa kuwanifasi mumateeka?
- Abalibwako nabulikyonna ekibalibwa kuwa haizi mubiri wajibati ebikakafu oba musitahabu ebyagalwo oba ebye tamibwa oba ebiri haramu okutuusa nokusoma ayati sajida haramu nokuyingira omuzigiti gwe mecca nemadiina wadde okuyitamu obuyisi, nokuyingira emizigiti emirala awatali kuyitamu, yadde okuteeka ekintu mumuzigiti, (dayo mussomo lya haizi).