Kakati ffe baabo tutuuse mukwogera kwaffe kubikwata kusswala- taata bweyagamba- ate “esswala nga bwekyayogerwa muhadiith yannabbi owekitiibwampaji yaddiini bwekkirizibwa nebisigaddeyo bikkirizi bwa, bwegaanibwa nebisigaddeyo biganibwa”.
Mazimayo ndagaano nakusisinkana ebyagererwa ekise era nga binywevu wakatiwomutonzi nebitondebye, ALLAH yateekawo ebiseera byazo ebirungi na- makubo gazo, nebifananyibyazo nengeri yayo mungeri yokwesinza… ebyo byoyimirirmubyo mumazo ga ALLAH, nga oyelekedde gyali namagezigo nomuti magwo nebiyungobyo, oyogera naye nomwegayirira, nogabirwa ebyengera nga amagezigo gesengejja, nofu na obuwomerezi nobulongoofu nobuwomu bwokutuuka nokumusisinkana kyamubutonde okufuna ekitiibwa nokutya okwokwagala nga nawe oyimiridde mumaso ga ALLAH omugulumivu… omusasizi kuggwe, omukwata mpola embeerayo, omuwulize ate nga mulabi.
Mazima okubbinkira kwa Jajjawo Amiiril- moumini na (a.s) mukumwesinza omuleziwe nokwolekerakwe gyali yennayenna kali kakisa akasanira okusowola akasaale mumubirigwe mulutalo lwe “swiffiini” ekya mufuula nga atewana nobulumi bwomubiri gwe nga awanjagira omuleziwe.
Ate yali imamuwo ZEINIL-ABDIINA (a.s) nga bwatawaza okusaala ebbala limyukirira nebamuga mba abantube: kiki ekyo ekikutuukangako nga otawaza naddamu nagamba: “mukimanyi nti mumaasogange wali wo gwenjagala okuyimirira kululwe”.
Yali nga bwayimirira musswala atandika okukankana, era nayanukula oyo aba amubu ziizza: “Njagala kuyimirira mumaso gamutonzi wange mberenga mmwegayirira, nekulwensonga eyo kwekukankana”.
Ate imam kazimu (A.S) yalinga bwayimirira muku saala neyeyawula nomuleziwe akaaba ebiyungobye nebikubagana, omutimagwe negukubagana kulwoku tya ALLAH owekitiibwa.
Lwaki Rashiid ekizikiiza kyekkomera kya muletera okweyawulira okugondera ALLAH nokumwe sinza, nga yebaza omuleziwe okumutegekera aka banga ako akalungi akagalibwa gyali nga ayogere nomuleziwe bwagamba: “muleziwange mazima nze ebbanga lyemmaze ngambadde nkusa ba omfunireyo akabanga mbeere nga nkwesinza kati amatendo kunsonga eyo”.
Ate yyo- eswala kwolesa kuwulira okwokungu lu kulwekyetago ekyomunda nga kisibuka mumutima, esswala kwekwewayo kulwa ALLAH owekitiibwa nokukwatagana nomutonzi omutonzi webitonde, omuyinza, nanyini bufuzi, mukiseera wogambira nti (ALLAHU AKBAR) nga otandika esswalayo, mazima ekintu maadda nenkolayakyo nebikifanana nabulikyonna ekikiriko kijja kutoniwa mumwoyogwo oba olya wo kyakasebengerera kubanga oyimiridde mumaso gomutonzi wensi, oyo eyemalilira kubwenyini bwakyo eyakigonza okusinziira kukwagalakwe yeyemunene okusinga bulikintu era yalina bulikintu mubuyinzabwe.
Atemukiseera wogambira : nga nawe osoma suula AL-Hamudu: “GWEWEKKA GWETWESINZA ERAGWE- GWETUSABA OKUTUYAMBA” katiggwe onaaba omubirigwo okuva buli- mubuwuufu kulwokusaba okuya mbibwa nokwewala ekitali ALLAH omuyinza wabyona omulamuzi kyonna ekiba kibadde.
Kunsonga eyo eyagalwa kulwokugonda ojjakube era nga onaaba bulilunaku emirundi etaano: kumakya muttuntu ku-asri, magribi, ne ISHA-A.bwoba oyagadde oyongera kwejo ekibakikusanidde ebyagalwa.
◘ Amakulu gekyo kirinti mazima esswala mulimu eziri WAJIBU ne MUSTAHABU. Enkakafu nezitali nkakafu-?
- Yye, waliyo eziri wajibu nendala mustahabbu.
◘ Esswala eziri wajibu nzimanyi… mazima zezo zetusaala bulilunaku, era zezino: swala yasubuhi ne zuhuri ne asri nemagaribi ne isha.
- Sizeezo zokka nti zesswala enkakafu wabula waliyo esswala endala enkakafu era zeezino: 1- swalatul Ayaati.(ejjakwogerwako.)
2- swalat Twawafu enkakafu mu-umura ne mu-Hajji. (ejjakwogerwako gyebujja mumaso).
3- okusaalira kumufu.(nayo ejja mumaso).
4- Esswala eyo omuzadde gyatasaala, nebeeranga ekakata kumwanawe omukulu okujiriwa oluva nyuma lwokufa.( ejjakwogerwako mumaso).
5- Esswala ekakata kulwokupangisa oba okweyama oba okulayira eyonno eyawuka na okusinziira kukwawukana kwebiseera.
Wabula esswala eyabulijjo erina ebitandiikirwako biribitano:
1- Ekiseera kyesswala. 2- Eqbla. 3- Ekifo kyesswala 4- Engoye ezoyo asaala.5- Okwetukuza muswala.
Taata yagamba: kisaana obutawubisibwa nti ebintu ebyo ebitano tebyetagisa musswala ezitali zabulijjo- muswala enkakafu neziri mustahabbu – kubanga ebintu ebyo byetagisa okubeerawo mubujjuvu insha- allah.
Kakati kanzire kukuteefuula ebintu biri ebutaano kimu kukimu.
◘ Obakyekyo ojjakutandika nakiseera kyasswala.
- Yye, nebitandika mubyo.
1- Ekiseera kyesswala bulisswala eyabuliru naku erina ekiseera ekyajigererwa, era tekisaana kukuvayo kwa al-fajiri okutusa kukuvayo kwenjuba ate ekiseera kyazuhuri ebbiri (zuhuri ne asri) kitandikira mukuchuka kwenjuba okutuusa lwegwa Ekiseera ekisooka kyeyawulidde swalabi suhuri ate ekisseea ekisembayo kya swalati Asri mukigero ekyozisaliramu.
◘ Ntegeera ntya okuehuka kweenjuba, nga kyekiseera ekitandikirwamu zuhuri zombi?
- Mazima kibeera wakati wokuvayo kwenjuba nokugwa kwayo.
Ate ekiseera kya isha zombi (magaribi ne isha) kyokitandikira mubudde wakati, ekiseera ekisooka kyeyawulidde swala yamagaribi ate ekisembayo kyaswala ya isha mukigero kyo kuzitukirizamu.
Totandika swala yamagaribi okujjako nga ebire ebimyufu bivudde emashiriq waggulu (ebuvanjuba)
◘ Ebimyufu ebyemashiriq kyekki?
- Mazima biba bimyufu waggulu kuggulu kuludda lwe buvanjuba opoziti yoluddaolu gwako enjuba era bivayo luvanyuma lwa kugwa kwanjuba.
◘ Ngerageranya ntya wakati wekiro, awo ekiseera kyaswalat isha wekikama?
- Mazimakyo kiseera kiri wakati wakugwa kwanjuba ne alfajri.
◘ singa obudde buziba nessisaala swala ya magaribi ne isha nga nkigenderedde?
- kikukakatako okwanguyiriza okuzisaala nga alfajri tennavayo nga onuyirira kusembera eri ALLAH kyokka. Awatalikunuyirira kutu kiriza swala oba kuliwa swala awamu nokwegendereza buli musswala nakwo nga kwekukakasa okuyingira kwekiseera nga to nnaba kutabdika eswala sinsonga oba ebeera swalati fajri oba zuhuri oba asri oba isha oba magribi
2- QIBLA: kikukakatako okwolekera muqi bula nga osaala, ne qibla- nga bwomanyi kyekifo ekyo ekisangibwamu ka’aba eyekitiibwamecca.
◘ Bwemba sisobodde kumanya saidi ya qibla oluvanyuma lwokuwayo obunyinkivu bwange nembulwa buli bubonero bwonna bwennyinza okwesigamirako ntegeere qibula?
- Saala nga otunudde kuludda lwosubira okubeerako qibla.
◘ Bwemba sisobodde kulondako luddalwonna?
- Saalira kuludda lwonna lwosubira oku beerako qibla.
◘ Bwenkakasa nga oludda lwonna lweluliko qibla, nensaala, oluvanyuma lwesswala nemma nya nti mazima nze mbadde kunsobi?
- Singa okwawukanakwo kuqibla kubadde wakati waddyo ne kkono swalayo ebeera ntuufu… naye singa okwawukana kuba kusingawo, oba swalayo nga ebadde ku- opoziti said neqibla naye nga ekiseera kyaswala kikyaliko, damu swalayo, naye ekiseera kyaswala bwekiba kiweddeko, tekikukakatako kugiddamu.
3- Ekifo kyo-omusaaze [genderera ekifo kyasswalayo kirina okubeera kyahalali kubanga esswala tetuuka nga ekifo mwo gisaaliidde kyakunyaga.)
Ate ekifo ekyetagisa okuwa khumusu nayenga tomuwadde kibalibwamubyokunyaga okugeza nga enyumba oba capeti oba ebirala ebikwata kukhumusu bijja, wabula tekye tagisa kugwa mubugayavu nobutafayo nga ate banji bakiyingira nebaziyiza ebivu nanyizibwa bya ALLAH mubugagga bwabwe .
◘ Tukitwale nti ettaka teri badde lyakunyaga neayenga liliko capeti enyage obunyazi.
- Nabwekityo swalayo tebantuufu kukapeti enyage. Taata yayongera nagamba:
Kikakata ekifo mwovvunnamira kirina okuba kiyonjo kitukuvu nga sikinajisifu.
◘ Ogendereramu ekifo ekyokuvvunama, ekifo ekyokuvvunnamirako nekyenyi?
- Yye, kutukuza kifo kyakuvunnama kyokka, ekitegeeza ettaka “Turba” nebirifanana mwebyo kwovvunnamira.
◘ Ate ebifo byesswala ebisigaddeyo, ekifokye bigere byombi okugeza ekifo ekikozesebwa omubiri gwonnamusswala?
- Temwetagisa butukuvu, singa kiba kikyafu naye nga obukyafu bwakyotebutambula kutuuka kumubiri oba kungoye kikkirizibwa okukisaaliramu esswala.
Wasigaddeyo ebintu ebyeyawulidde ekifo kyoyo asaala ngenda bbikubulira mungeri ya pointisi
1- Tekisaana musswala oba mukintu ekivala kukuba ntaana zaba ma, asuumiima mabega smga mukuziiku amabega mubeeramu obukyafu bwempisa
2- Swala yomusajja oba omukazi tetuuka singa baba baliiranaganyi oba singa bayimirira kulaini emu nebe nkanankana oba singa omukyala okulembera omusajja okujjako nga waliwo ekyawula wakati womusajja nomukazi okusukka muyadis kkuumi nga opimisa mukono oba nga waliwo kisenga.
3- Kiri mustahabbu okusaalira mumuzigti, era nga emizigiti egisinga obulungi gwemuzigitigwa haram emacca no- omuzigiti gwannabbi no-omuzigiti gwe kuufa nomuzigiti ggwa Aqswa.
Nga bwekiri mustahabbu okusaalira esswala mu- mashahidi gaba imam bama- asuumu (A.S).
4- Ekisinga obulungi kumukyala kwekulonda wo ebifo ebisinga okubeera ebibikkirire mwaba- asaali ra, newankubadde munyumbaye.
1. Ekyambalo kirina okuba kiyonjo nga sikyakunya ga, ekyonga kyeyawulidde olubikka obwerere era ekyo kyawukana embeera yakyo kumusajja nomukazi, kubanga kimala engoye ezomundazokka okubeera halali nga empale enyimpi eri aba sajja, kyokka kubakyala ekyotekimala kulwo bugazi bwekifo kyabikka musswala omubirigwe gwonna okujjako ebyajjululwamu.
2. Obuteabeera nga kimu kubintundu byekintu ekifu nayenga bwekiba ekiramu kiba halali, nga eddiba lyekisolo ekisaliddwako mu- sharia newankubadde nga lyokka terimala kubikka bwerere.
◘ Abaffe okusaalira mumusipi ogweddiba esswala etuuka nayenga gujjiddwa mumukono gwamusiramu, obanga gwakolebwa munsi yabasiramu, kyokkanga tetumanyi kusalibwa kwakisolo ekyo musharia?
- Yye, swala ebeera ntuufu okujisaaliramu.
◘ Ate omusipi gweddiba ogwajjibwa mungalozo mukaafiiri, oba ogwakolebwa munsi yabakaafiiri.
- Swala ebantuufu okujjako nga otegedde nti guvudde mukisolo ekitasaliddwa musharia.
◘ Bwemba sirina bukakafu nti guno omussipi guvudde gwakolebwa muddiba lyabutonde oba ddiba kkolerere?
Okkirizibwa okusaliramu bulimugeri yonna.
3. Engoye zomuzaaze zirina okubanga tezakolebwa mubitundu byansolo nkambwe, singa byebigendaoku bikka obwerere, oba mubisolo ebirala ebitaliibwa nyama yabyo.
4. Obutaba lwa haliili (feeza) mwerere kusaidi yaba sajja, ate bo abakyala bakkirizibwa okusaalira mu haliili (feeza) omwerere.
5. Obutaba nga lwa zahabu mwerere oba ata buddwamu nayenga bwomulaba omunya nti zaabu atali oyo atategerekeka kusaidi yabasajja.
◘ Singa ebeera mpeta yakumukono oba kinyere kyabufumbo ekyomunkoto?
- Newankubadde nga mpeta yakumukono oba kinyere kyamubulago ekyobufumbo, mazima swala teba ntuufu eri omusajja nga yasaliddemu mukyo nga bwekiri nti kizira kumusajja okwambala zaabu lubeerera.
◘ Newankubadde mukiseera kyesswala?
- Lubeerera… bulijjo yadde mukiseera ekitali kyasswala.
◘ Ate amannyo gazaabu agomuada agakolebwa eri abamu kubasajja, nessaawa eya zaabu abamu bajisitulira munsawo?
- Ebyo bikkirizibwa eri abasajja era swala zaabwe ziba ntuufu.
◘ Singa omusajja abatamanyi nti empetaye ya zaabu kyokka najisaliramu, oba abadde amanyi ntiyazaabu neyerabira nagisaaliramu bwamala najju kira oba namanya oluvanyuma lwokuggwa kweswala.
- Swalaye ebantuufu.
◘ Ate abakyala…?
- Bakkirizibwa okwawbala zaabu lubeerera era swala muzaabu ebantuufu kusaidi yaba kyala.
Wasigaddeyo munyambala yomusaaze ekintukimu nga kirina omugaso, kyekino abaffe kikakata kumu sajja okubikka obwererebwe musswala nganabwo bwebusajjabwe nentulaze nawafulumizibwa empi tambi?
Ate kikakata kumukyala okubikka omubirigwe gwonna musswala nenviirize newankubadde nga ali yekka tewali amulaba okujjako ekyenyi okuyisa awo akakaya wekatabikka bulijjo nga kakka kukitetaiyi, nebibato byombi okutuusa mu nyingo omukono wegutandikira, nebigere byombi oku tuusa muntandikwa yentumbwe ebyo tebibikikibwa.
Ebyo byebitandikirwako musswala.- taata yeyaga mba- Ate yosswala yenyini guba mulimu nga gwegatta mu ebitundu bingi nebimu nga bikakafu “wajibaati”
Byebino: okuleeta Nniya, takibiiratul lhram, okuyimirira, okusoma al- hamudu, okwogera ku-ALLAH, okukutama, okuvvunnama, okuleeta tashahuddi, okutoola salamu, nga ogenderera mubintu ebyo okwanguyiriza nokulina nyisa nga bwojja okumanya.
◘ Lwaki totandise nakwaaziina oba nokukima swala?
- Nga sinnaba kwanukula kibuuzokyo njagala nkugunju le nti mazima ebimu kubitundu ebyo byetugambye biyitibwa mpaji nganazo zezino:
1- Enniya 2- Takibiratul Lhram 3- Okuyimirira 4- Okukutama 5- Okuvunnama.
Ate ebitundu ebisigaddeyo byeyawulidde nakwo noona swala nga okujikendeeza nobugenderevu oba okwerabira.
Kati nzira kukwanukula ekibuuzokyo:
Okwaziina nokukima swala muswala eyabulijjo enkakafu kitwalibwa nga kiri mustahabbu enka kafu era esaana omusaze okugireeta, nayenga kikkirizibwa okubireka.
Taata wange yayongera nagamba nga ankuutira:
Nkwegombesa obutaleka kwaziina nakukimaswala musswalaazo eziriwajibu ezabuli lunaku kyadda ki n ofiirwa empeera yabyo byombi (ALAZHAN WAL- IQAMAH)
◘ Bwemba njagadde okwaziina njaziina ntya?
- ogamba:
|
ALLAHU AKBAR |
Emirundi eena. ×4 |
|
ASHlHADU ANLA ILAAH ILLALLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
ASHIHADU ANNA MUHAMMADA RASULULLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALASSWALAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALAL- FALAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALAKHAIRIL AMALI |
Emirundi ebiri ×2 |
|
ALLAHU AKBAR |
Emirundi ebiri ×2 |
|
LA- ILAHA ILLALLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
◘ Ate okukima swala?
- Mukukima Swala ogamba bwoti :
|
ALLAHU AKBARU |
Emirundi ebiri ×2 |
|
ASHIHADU ANLIA ILAHA ILLALLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
ASHIHADU ANNA MUHAMMADA RASUULULLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALASSWALAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALAL- FALAH |
Emirundi ebiri ×2 |
|
HAYYA ALA KHAIRIL AMALI |
Emirundi ebiri ×2 |
|
LA- ILAHA ILLALLAH |
Emirundi ebiri ×2 |
◘ Ate nga toyogedde kushahada ebbiri eza wilayati imam Ali bin Abitwalib Amiiril mu-umini na (A)?
- Mazimayo kuba kuba kujjuza shahada yamubakawa katonda ete eri mustahabbu, nayenga tebalibwa nga kitundu mukwaziina oba mukukima swala.
◘ Ekitegeeza ekitundu kyesswala ekisooka kye wayise ggwe nti Nniya?
- Yye.
◘ Niya kyekki?
- Kwekugenderera esswala nga oyagalakwesinzanayo nga okyalira ALLAH olukyala olwokwekkakanya.
- Njagala otegere okweyongera oba okukyala okwokwekakkanya mukifananyi ekyeyolefu.
- Okukyala okwokwekkakanya gwogwe mulimu ogwo mumwoyo ogulinanyisa ebikolwa ebyokwesinnza omuntu byawulira nabyo nti mazima yemuddu omukkakamu mumaso ga ALLAH omugulumivu.
◘ Abaffe Niya erina enjatuza egyeyawulidde?
- Nedda, mazimayo mirimu gyamumutima sosirulimi, nolwekyo nga ekifo kyayo mwoyo wabula mazima ggwe bwoba togenderedde musswala kwesembeza nakwekkakanya eri ALLAH nennenyenyazo ezo zokolamuswalayo Swalaayo ebanfu.
EKYOKUBIRI: TAKBIIRAT AL- IHRAM.
◘ Takbiratul ihramu kyekki?
- Ogamba: ALLAHU AKBAR. Nga nawe oyimiridde kubigerebyo nga otebenkedde mukuyimirirakwo nga oyolekedde muqibula... ogamba mululimi oluwarabu, nga oyanjuluza mukwatulakwo ennyukuta ya hamuza muddoboziyo mukigambo “AKBAR” nabwekityo enyukuta ezisigaddeyo.
Ekisinga obulungi kwekwawula wakati wa takibi ratul lhiram eyo nentandikwa ya suurat al- ha mudu noyawulawo nekintu kyonna nga okusirika akatono waleme butabawo njawulo wakati watakibiratul ihram ne ssuula AL- hamudu.
◘ Ogambye nti kikakafu okutoola takibira nga oyimiridde kubigerebyo, Singa obeera mulwadde notasobola kuyimirira kubigerebyo yadde kwesiga ma kumuggo oba kukisenge oba kukintu kyonna kati awo okola otya?
- Saala nga otudde, bwaba tosobodde bwo tyo saala nga ogalamidde kuluddalwo olwaddyo oba olwakkono nga ekyenyikyo kyolekedde muqibla, “kikakafu okukulembeza oludda olwaddyo kulwakkono Singa wabawo obusobozi.
◘ Bwemba sisobodde?
- Saala nga ogalamiridde kunkoonayo nga ebigerebyo biri muqibla gyebitunudde.
◘ Bwemba nsobola okuyimirira mukutoola takibla yokka nessisobola kugenda mumaso nga nyimi ridde?
- Kikukakatako okutoola takbira nga oyimiridde nogende mumaso neswalayo nga otudde obanga webase nga bwenkunyonyodde.
EKYOKUSATU: AL- QRA’AT.
- Kujja oluvayuma lwa takbrat ihram nga osoma suula ya AL- hamudu ne ssuula enzijuvu endala oluvanyuma lwa AL- hamudu okusoma okutuufu awatali nsobi ate tewerabira kusoma bisimillah buli muntandikwa yessuula okujjako suula yatawuba ojisoma nga bwogisanga mu qru’an.
◘ Singa ekiseera tekinzikiriza kusoma suula yakubiri eri gyensoma bulijjo oluvanyuma lwa AL- hamudu?
- Leka okusoma suula osome al-hamudu yokka era bwotyo bwokola nga olimulwadde nga tosobo kusoma suula yakubiri oluvanyuma lwa AL- HAMUD obanga obadde olikutya oba olimangu.
◘ Ngeri gyensomamu essuula ebbiri?
- [Kikakata kumusajja oba abasajja okusoma suula zombi mulwatu muswala yasubuhi nemagaribi ne ISHA, ate nokuzisoma mukyama muswala ebbiri Asri ne zuhuri]
◘ Ate abakyala?
- Tewali kwatuza kubakyala okujjako omukazi kikakata kuye okusoma mukyama muswala yazuhuri ne Asri.
◘ Singa mba simanyi teeka lyakwatuza nakusoma mukyama musswala oba nerabidde nensoma suula zombi oba emu kuzombi mukyama nga ate nsa’la swalati subuhi oba magaribi oba ISHA.
Oba nenzisoma oba emu kuzombi muddobozi eyawaggulu nga ate nsaala zuhuri oba Asri ekitegeeza nga ndikyenyume kyabyo?
Swalatuka swahihi: swalayo ebantuufu.
◘ Ezo zengenda okusoma muswala raka- esooka neyokubiri, naye ate eyokusatu neyokuna naasomera muuki?
Gwe oliwaddembe wakati wokusomera muraka eyokusatu neyokuna suula Al-hamudu yokka.
Oba okusoma tasibiihaati enya mukyama mumbe ne zombi okujjako BISIMILLAH kikukakatako singa obadde imam oba nga oliwekka okujisoma mulwatu.
◘ Singa mbansazewo okusoma tasibiihaati ngambantya:
- Kikumala okugamba mukyama: (SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA ILAHA ILLALLAH WALLAHU AKBARU) omulundi gumu oba emirundi esatu eranga kyeki singa obulungi.
◘ Abaffe eyowaliyo ekyetagisa ekirala mukusoma?
- Yye, bwova mukusomakwo nogenda mumaso ekisinga obulungi kwekwatuza kunkomerero yebigambo okusi nziira kunjatuza yabyo toddira kigambo kiriko sukuuni noteekako fataha, ate ekisinga kwekutee ka sukuuni kunkomerero yekigambo nga oyimirira.
Ate kikukakatako oluvanyuma lwekyo okuwanvu ya enyukuta ya “ALFU” oluwanvuya olutonotono nga nawe osoma ekigambo [WALALLWAALLIINA] kunko mereo yasuula ya al- hamudu olyoke osobole okwekumira kukutuukiriza Tashidiidi ne ALFU mukifananyi ekirungi.
◘ Oluvannyuma lwekyo?
- Sangula hamuza eyokuyunga mukusomakwo singa esangiddwa wakati mubigambo sosikuntandikwa- kwa bigambo, ate oyolese hamuza eyokukutula singa ogenda kuyimirira esobole okweyoleka kululimilwo nga etegeerekeka mukuyimirira.
◘ Mpayo kukyokulabirako eri hamuzatul wasuli ne hamuzatul qatu’e.
- Hamuza mukigamba (ALLAH, ARRAHMAN, ARRAHIIM, IHDINA) eyo gyebayita nga osoma obanga oge nda mumaso nokusoma.
Ate hamuza eri mukigambo [IYYAKA, AN- AMUTA) eyo gyebayita hamuzatul qatu’e eyolesebwa kululimi nga ojatuza mukugisoma.
◘ Oluvannyuma ate kiki?
- Olvanyuma bwoba oyagadde okusoma suula yatawuhiidi oluvanyuma lwa AL- hamudu nga gyolonze mukifokye ssuula endala kikwanguwira okuyimirira kukigambo : (AHADU) nokiteekako sukuuni bwoti (AHAD) nga osoma aya eyekitiibwa: (QUL- HUWALLAH AHAD) ekitege za owummulamu katono nga tonnaba kusoma aya eddako: (ALLAH SSWAMAD).
Taata yayongerako nagamba:
Kulwokukuuma obutuufu bwokusomakwo muswalayo nkukuutira obeerenga osalira emabega wa imam amamyi okusoma muswalaye musswalaye akuyigirize okusomakwo nesswalayo Singa ekyokikuzibuwalira, mubutonoennyo gezako okuyiga okusoma obulungi essuula ebbiri (suula ya al- hamudu nessuula egiddako) nga ogobe rera omu kubasomi ba qru’an abatikirivu aba ma nyi okwatuza enyukuta obulungi, nga ogoberera okusomakwe nokusomakwo, mukiseera ekyo notegee ra ensobiizo singa aba ozisanze ozitereze ekyo kyekirungi okusinga okugenda mumaso nga ate olikunsobi zewakulirako okuva mubuto yadde nga ozuudde ensobiyo oluvanyuma lwekise era obanga osadde emyaka mingi esswala etali ntuufu mukusoma
EKYOKUNA: OKUYIMIRIRA.
Amakulu gakwo meyolefu, naye njgala kutegeeza nti okuyimirira kyekimu kubitundu byasswala eranga kirina ekitendo ekyokwegatta, kwo okuyimi rira kuyinza okuba mpaji nga okuyimirira mukutool la takibirat ihram nokuyimirira nga tonnaba kuku tama kwebayita okuyimirira okwegasse nokukutama.
Olwonno nebifuuka empaji ate kiyinza okuba ekikakafu nayenga simpaji nga okuyimirira nga osoma nokutoola tasibiihi nokuyimirira oluvanyuma lwa – rukuu- okukutama mukiseera ekyo kubeerako amateeka gebikakafu musswala nayenga simpaji.
EKYOKUTANO: OKUKUTAMA.
Oluvanyuma lwokusomakwo essuula ebbiri kiku kakatako okukutama.
◘ Naye nkutama ntya?
- wewetamu okutuusa ennwezengalozo lwezitu ka kumaviiviigo kati bwomala okutebenkera mukukutama ogamba [SUBUHANA RABIYAL AZWIMI WABIHAMUDIHI] omulundi gumux3, oba ogamba:
[SUBUHANALLAH] emirundi esatux3, oba ogamba:
[ALLAHU AKBAR] emirundi esatu, oba ogamba:
[AL- HAMUDULILLAH] emirundi esatu, oba ebirala ebita li- ebyo nayenga biri mukigero kyabyo mukujjukira ALLAH nga okuleeta tahaliili essatu.
Olvanyuma noyimuka okuva mukukutamakwo noterera, okutuusa nga omaze okutebenkera mukuyimirira okkawansi novvunama.
EKYOMUKAGA: OKUVVUNAMA.
Kikakata buli mulaaka emu enzivunnama nebige re ebissajja byombi nobiteeka kuttaka.
Ate kalombolombo lwekyo kyovvunamako nobeekako ekyenyikyo kirina okubanga kiva muttaka oba mubimera ebyomuttaka ebitaliibwa yadde okwa mbalibwa.
◘ Mpayo kukyokulabirako kwebyo ebitasaana okuvunnamako kulwokuba nti biriibwa oba byamba lwa?
- Emboga namatunda tebisaana kuvunnamirwako kubanga biriibwa, ate pamba ne tebi saana kuvunnamako kubanga byambalwa.
◘ Kukintuki kwemba mvunnama?
- Beeranga ovunnama kuttaka oba kumusenyi, oba kukayinja, oba kulwaazi oba kulubawo oba kwekyo ekitaliibwa mubioola byomuti vunnama kumuti ekkoola lyagwo nga erikozesebwa muku wandiikako oba olupapula lwenyini singa luba lwakolebwa mulubawo oba mupamba oba kittani vunnama kubisunku, nebyesogedde binginnyo.
Tovunnama kungano nomubere nepamba nebyoya nequpa nekoolansi nekisinga obulungi kwe kuwmama kutaka naye ekisingira ddala ye turubatul huseiniyya emirembe gibeere kuuye.
◘ Bwemba sisobodde kuvunnama kwebyo ebisaana okuvunnamibwako kulwobutabeerawo mubungi oba nga ntya okubivunnamako mungeri yatuquya?
- Bwoba tofunye bivunnamirwako beeranga ovuna ma ku koolansi bwebiba tebifunyise vunnama kukyoyagala... kulugoyelwo oba kukibatokyo ate bwobeera mungeri ya tuquya vunnama kwe kyo tuquya kyegamba: tewerabira kubeeranti ekifo wovunamira kibeera kulevo emu namaviiviigo nennwe zebigerebyo ebisajja tekyeyongera obuwanvu bwekimu kubyo kukinne wakyo engalonnya ngazigatti ddwa wamu nabwekityo ekifo kyovvunamirako kukifo woyimirira
◘ Singa nteeka ekyenyi kyange nekibato kyange nebige re byange nevviiviryange kuttaka kikikyenkola?
- Gamba oluvanyuma lwokutebenkera mukuvunnama: (SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMUDIHI) omulundi gumu oba gamba: (SUBUHANALLAH) oba (ALLAH AKBARU) oba (AL-HAMUDU LILLAH) emirundi esatu oba ebirala mubyokwogera ku ALLAH ebifanaganako nga ebyo.
Oluvannyuma situla omutwegwo otuule otebe nkere, bwotuula notebenkera, zaawo omutwe ovvuname oluvunnama olwokubiri osomere mulwo kyolonze mwebyo byo tegedde mukusooka.
◘ Bwemba sisobodde kwewetamu okujjuvu okwo kuvvunama kulwobulwadde?
- Gezako okuvvunama ekigero kyosobola, oddire kyovvunamako okiteeke wagguluko oluvanyuma oteekeko ekyenyikyo nga olabirira okuteeka ebimu kubiyungobyo mubifo byabyo.
◘ Bwemba sisobodde mwekyo nakyo?
- Wunzikira omutwegwo eri ekifo kyouvunamira mu bwoba tosobodde laza namasogongo ozibiriza kulwokuvunnama ate nga omoga ekiraga nti omaze okuvunnama.
EKYOMUSANVU: TASHAHUDI.
Ekakata oluvanyuma lwokuvunama omulundi ogwokudiri nga ova mulaaka eyokubiri buli muswala, nemulaaka esembayo muswala ya magaribi ne- zuhri ne- Asri ne SIHA.
◘ Kiki kyenjogereramu?
- Gamba: [ASHIHADU ANLA – ILAHA ILLALLAH LASHARIIKALAHU, WA-ASHIHADU ANNA MUHAMMADA ABDUHU WARASUULU HUALLAHUMMA SWALLI ALA- MUHAMMADI WA- AL MUHAMMADI] ajogera mukifananyi ekirunginga otudde otebe nkedde mukutuulakwo nga oyanguyiriza wakati webikolwabyo.
EKYOMUNANA: OKUKUBA- SALAM.
Nayo nkakafu mulaaka esembayo buli muswala ogamba oluvanyuma lwatashahudi nga otudde oteredde mukutuulakwo.
◘ Njogereramu kiki?
- Kimala okugamba muyo: (ASSALAM ALAIKUM) ekisinga obulungi oyongerako (WARAHMATULLAHWABARAKATUH) ekisinga obulungi muyo ogamba okusooka: (ASSALAMU ALAIKA AYYUHANNABIYYU WARAHMATULLAHI WABARAKATUH) (ASSALAMU ALAINA WA- ALA IBADILLAH SSWALIHIINA).
Ebyo byebiyungo byasswala olina okubituukiri za kimukukimu nga bwembibaze nembiteekulula nga biddiringana ebimu bidda kubinne wabyo ate ebimu bikwata kubinne wabyo awatali kulekawo kabanga akonoona ekifananyi kyesswala nobumu bwayo.
◘ Lwaki toyogedde ku- qunuutu ate nga ggwe ositula emikonogyo nokola qunuutu muswalayo?
- Qunuutu yo-eri- mustahabbu omulundi gumu muswala zonna ezabulilunaku nendala okujjako: [SWALA YA- SHAFU-E] oluvanyuma lwokusoma essuula ebbiri mulaaka eyokubiri nga tonnaba kukutama situla emikonogyo okole qunuutu bwoba oyagadde mustahabu.
◘ Abaffe erina enjogera eyetekuludde gyenyinza okwogera?
- Nedda, kikusobokera okusomeramuyo Aya ya qru’an nga osabiramu ALLAH omugulumivu kyonna kyoyagala nowanjagira omuleziwo nomuzaba nedduwa yonna gyoyagala.
◘ Kaakati mmaze okumanya engeri gyensaalamu era kiki kyengamba oba kiki kyenkolera buli mukitundu wentuuka musswala njagala okukubuuza kwebyo ebyonona esswala abaffe waliyo ensonga ezonoona esswala nekinkakatako okuddamu esswala singa bifunika?
- Yye, era nzijakubikubalira?
1- Okuleka ekimu kubiyungo oba ebitundu byasswala ebyasoose nga ate ogenderedde,: enniya,oba takibi ratul-ihramu oba okukutama, okuvunnama, oba ebirala ebiringa ebyo.
2- Okuvamu omukka nga osaala eranga olimusswala newankubaddenga kwerabira oba kuwalirizibwa olu vannyuma lwoluvunnama olusembayo.
3- Okukyusa ekyenyi okukijja muqibula mubujjuvu bwakyo oba omubirigwe gwonna nga agenderedde.
◘ Singa atunua erudda nayenga katono ngabwa yinza okuchukako katono nga tekiraga nti tatunudde muqibula?
- Ekyo tekikosa swala naye kyetamibwa.
4- Singa omuntu asaala asekera musswala nga agenderedde muddobozi eyawaggulu ewulirwamu okutyetyemuka.
5- Singa omuntu asaala akaaba nga agenderedde.
Sinsonga oba okukaaba kubeeramu eddoboozi oba teribeeramu yadde ekimu kubintu byedduniya naye tekikosa kukaaba singa ensonga ekwata ku- Akhera.
6- Okwogera nga ogenderedde musswala yadde enyukuta emu singa ennyukuta ebeera mu amakulu sinsonga oba ayagadde makulu gaayo okugeza nga bwanagamba (Qii) kikolwa kyakula gira kiva mukigambo (waqa) okwekingiriza oba ayagadde kutegeeza makulu malala agatali gakigambo kyayogedde nga bwayinza okubuuzibwa nga alimusswala nti nyukutaki eyokubirimunyu kuta za- alfabetiko? naddamu nti (BBE) ate mubigambo ebyonona esswala tujjululamu okuddamu salam nga bwoba ogiwulidde kubanga okujiddamu kuli wajibu kukakafu.
7- Okukola omulimu ogujjawo ekifanaanyi kye sswala nembeera yayo okugeza nga okutungira musswala oba okwetakula enyo.
8- Okulya nokunywa nga olimusswala newanku badde nga tekijjawo mbeera yasswala wabula kyokyonoona esswala.
9- Okugenderera okuteeka omukonogwo kugu nnewagwo nga oyimiridde musswala nga ogende reramu kugonola nakukola mpsa eri ALLAH ngeri yakutya nga nakyo kyebayita ATTAKIFIIRI.
10- Agoberera lmam okugamba nti (AMIINA) nga imam amazeeko suula AL-FATIHA awatalikutya.
Ate oluvanyuma waliwo ebisaana okwogerwako nga nalyo lyessomo (lyashakk) okubuusabuusa muswala
◘ Abaffe okubuusabuusa musswala kitta esswala?
- Okubuusabuusa musswala tekitta swala bulijjo nabuli- mungeriyona, ezimu kumbuusabuusa zitta esswala, ate ezimu- muzo tezitwalibwanga ekntu wabula zirekebwanga bweziri.
Kati mukutwaliza awamu ngenda kukuwa etteeka eribuna ngalikwata kuzimu kumbeera zashakk- okubuusabuusa.
◘ QA’EDA esooka: buliyenna abuusabuusa muswalaye ntuufu oba sintuufu oluvanyuma lwokumaliriza swalaye awo tubala swalaye nga ntuufu.
◘ Ekyokulabirako:?
- Singa obuusabuusa oluvanyuma lwokusaala swala yasubuhi nga ewedde, abaffe osadde laaka bbiri oba zisukkamu oba teziweze bbiri ? awo gamba nti swalayange ntuufu.
◘ QA’EDA eyokubiri: buliyenna abuusabuusa mukitundu kyesswala mubimu kubitundu byesswalaye nayenga amaze okukivamu, ekitundu ekyo kibalibwanga kituufu era neswalaye nga ntuufu.
◘ Ekyokulabirako?
- Singa obuusabuusiaizza muksomakwo, obamubutuufu bwokukutamakwo oba okuvunnamakwo oluvanyuma lwokumala okusoma, oba okukutama, oba okuvunnama lwokumala okusoma, oba okuvunnamakwo oluvanyuma gamba nti okusoma kwange kutuufu, oba okukutama kwange kutuufu, oba okuvvunama kwange kutuufu... ate oluvannyuma lwebyo swalayange yonna ntuufu.
◘ QA’EDA eyokusatu: buliyenna abuusabuusa mukuleta ekitundu mubitundu byesswala atenga amaze okuyingira mukitundu ekiddako kwekyokyavamu azimbira kukugamba nti akikoze era nesswalaye ebantuufu, wabula kimala okuzimbira kwekyo kulwabwokka bwakuyingira mwekyo ekitasaana kuyingirwamu shari, eyya okukugerageranya kwo kutta ekitundu ekisoose kagenderere.
◘ Ekyokulabirako: singa obuusabuusa nga olimusu ula eyokubiri abaffe osomye suula ya AL- fatiha oba ogyerabidde, notagisoma gamba: mazima nze ngisomye ogende mumaso nesswalayo, nabwekityo singa obuusabusa nga olimumbeera yokugenda –murukuu- okukutama abaffe osomye essuula oba nedda? gamba nti mazima nze ngisomye ogende mumaso neswalayo, era ebeera ntuufu.
◘ QA’EDA eyokuna: buliyenna ayitiriza okubuusa buusakwe nasussa ekikomo ekyobutonde, ava kukubuusabuusa natakutwala nga kintu eranatatu nulayo. Swalaye gyabusizzabuusizza muyo ebeera ntuufu.
◘ Ekyokulabirako?
- Singa mubiseera ebisinga obungi obuusabuusa nga ate olimusswala yasubuhi nobuusa buusa mumuwendo gwe laaka zaayo, kyokola kuleka butafayo ku shakkuyo, nogamba: swalayange ntuufu.
Singa oyititiriza okukola shakku mukubeeranti ovvunamye enzivunnama biri oba lumu ogamba: mazima ggwe ovvunamye emirundi ebiri era tofayo kushakkuyo wabula swalayo ebantuufu nabwekityo bulijjo.
◘ Ntegeera ntya nti ndina shakku mpitirivu?
- Omuyitirivu washakka ategeera yekenyini mubwangu... anti kumala bumazi shakkaye okweyongera kuba ntu ababulijjo abamufanana ate kimala obutasaala swala ssatu okujjako nga abuusizza mwemu kuzo.
- QA’EDA, eyokutaano: buli yenna abuusabuusa mumu wendo gweeraaka za- swala yasubuhi oba swalaya magaribi oba mulaaka ebbiri ezisooka esooka neyokubiri buli musswala eyelaaka ennya nataso bola kulondako mumagezige emukundowooza ebbiri, era natasobola kulondako mumagezige muwendo gwetongodde mulaaka ezo, wabula nasigala nga talina kituufu okujjako shakka nga tamanyi laaka mmeka, omuntu ngoyo swalaye ebeeranfu.
◘ Ekyokulabirako?
- Singa afuna shakka –katugeze- nganaye asaala- swala ya subuhi nagamba abaffe oba ndimulaaka yakubiri oba esooka neyetegerezamu katono, nalowoza, kati singa abatatuuse kukirowoozo kisembayo ekyenkomerero natalondawo mumagezige nti- mazoma alimulaaka esooka katugeze, oba laaka yakubiri swalaye eba efudde.
◘ Singa alondawo mumagezi emu-kundowoza ebbiri nga bwanasalawo nti alimulaaka esooka?
- Singa alondawo omuwendo gwe- laaka ogweyawudde akolera kwekyo endowoza kyegamba, bwekibanga ekiyisiddwamu-mukibuuzokyo- yendowoza nti mazima laaka yesooka, kyakola kuleeta laaka yakubiri najju za swalaye era ebeera ntuufu nabwekityo embeera musswala yamagaribi nemulaaka ezisooka esooka neyokubiri buli musswala eyelaaka ennya.
◘ Kati mmaze okutegeera etteeka lyashakka mu sswala ebbiri eyasubuhi nemagaribi, ne mulaaka ebbiri esooka ne yokubiri muswala yadhuhuri ne asri ne isha, naye tteekaki erikola mushakka singa ziba dde laaka yakusatu oba yakuna muswala ezee laaka ennya?
- Singa mumagezige alondamu omuwendo ogweyawu dde mulaaka akolera kundowozaye kyegamba era okusinziira kwekyo kyayisizzamu mumagezige.
◘ Singa asigala nga alimubbanga abuusabuusa addingana?
- Mumbeera nga eyo kijja kwetagisa okunnyola nyo kubanga bulikifo wona kirina etteeka lyakyo eri kyeyawulidde, nzijja kwegerako ebimu mukubala nayenga sijja kuwanvuya:
1- Omuntu abuusabuusa wakati welaaka eyokusatu neyokuna wonna shakka weebeera azimbira kukuga mba nti eyo laaka yakuna najjuza swalaye.
2- Bwamala naleeta laaka bbiri nga atudde oba laaka emu nga ayimiridde, eyo- neyitibwa swala ya “IHTIYA”. Ti
3- Omuntu akola shakka wakati welaaka eyokuna neyokutaano nga amaze okuyingira mulukutama olwoku biri (era nga ateese ekyenyikye kukivunnamirwako yadde nga tanaba kutandika kutendereza) azimbira kukugamba nti eno laaka yakuna bwamala najjuza swalaye bwamala navunnama emvunnamabbiri ezookwerabira oluvanyuma lweswala.
4- Omuntu bwakola shakka wakati welaaka yoku biri neyokusatu nga amaze okuyingira muluvunnama olwokubiri azimbira kukugamba nti alimulaaka yakusatu, naleeta eyokuna oluvannyuma lweyokusatu, kati bwamala swalaye, asaala swalaya lhitiyati (nga nayo ebeera laaka emu nga ayimiridde).
◘ Swala ya lhitiyati esaalibwa etya?
- Oluvannyuma lwokumala esswalaye bwaba nga tannaba kutunula kuddyo nekukkono eranga tanna ba kukola kyonoona swala atandikirawo swala ya lhitiyati naleeta takibira bwamala nasoma al-fatiha (mukyama) naye temwetagisamu suula-ya kubiri, bwamala nakutama navvuunama naleeta tashahudi nakuba salam singa swala yaihitiya ti ebeera yalaka emu naye singa ebeera yalaaka bbiri kyakola kuleeta laaka yakubiri ngabwako ze mulaaka esooka.
◘ Ate okuvunnama okwokwerabira kuli kwewayogedde?
- Oleeta niya novvunama oluvannyuma lweswala direct ate ekisingaobulungi kwekuleeta takibira lhram nogamba mukuvunnamakwo:
(BISIMILLAH WABILLAH ASSALAM ALAIKA AYYUHA NNABIYYU WARAHMATULLAH WABARAKATUH).
bwomal nositula omutwegwo kuttaka notuula ate noguzzawo mukuvunnama nga bwewasoose ate nositula omutwegwo notuula noleeta tasha hhudi nokuba salam nabwekityo nomala suju udi- ssahawi.
Taata yayongerako: leka kibeere mundowozayo nti mazima ovvunama sujuudu –ssahawi sirwakuba nti kubanga okoze shakka mulaaka eyokuna neyokutaano wabula sujuudi sahawi ekolebwa nemubifo ebirala bingi:
A- Singa oyogedde musswalayo nga werabidde oba nga bugayavu.
B- Singa oleese ssalamu mukwerabira mukifo ekitasaana kutooleramu salam nogamba: (Assalamu Alaikumu) oba ogambye (Assalam Aleina wa-ala ibadillah sswalihiina) kyokka nga tonnaba kujjuza swalayo.
C- Singa werabidde okuleeta tashshuddi muswalayo novunnama envunnama ebbiri ezokwerabira neki singa obulungi kuleeta tashahhudi awamu nekyo.
D- Singa ofunamu okumanya mukutwaliza awamu – oluvannyuma lweswala- nti mazimaggwe oyonge ddemu oba okendeezezza awamu nokubeera nti swalayo eramulwa nga ntuufu olina okuvunnama sujuudu – ssalhlwi mukiseera ekyo.
Ezokwerabira singa oba werabidde sajida emu muswalayo –oluvanyuma lwokuliwa oluvannyumalwe swalayo- oba nga oyimiridde mukifo kyokutuula oba opoziiti yakyo mukwerabira, wabula ekirungi kwekuvunnama envunnama ebbiri ezokwerabira buli lwoyongeramu oba okukendeeza musswalayo.
E- Damu okuvvunama kwasahawi emirundi nemirundi egyetagisa ekitegeeza beera nga ovunnama emiru ndi ebiri oba okusingawo.
Nsemberedde oluvanyuma olwokukomenkkereza okwo gera kwaffe kussomo elyesswala nsaba taatawange ampeyo essomo elyokukolerako eri esswala eye laaka enya kubanga yesinga obuwanvu musswala ezabulijjo enkakafu mbeerenga nekenneenya ngeriki taata gyaleetamu takibiratil ihram era nasoma nakutama navvunama nakuba salam, wabula mazima nadda emabega oluvannyuma lwokujjukira nti mazima asaala bulilunaku eswala ya ISHA nga ate nayo swala yalaakannya mulwatu nengamba mumwoyo gwange: bwekiba bwekityo kamugenderere nga asaala.
Mukiseera taata weyayagalira okutandika swalaye eyelaaka ennya eri eyolwatu, nalinga ndimuyitirivu WA kumutunulira eranga wendintunula nga bwendaba ekifuluma nekiyingira mukwenyenya kweswalaye, era ngenda kubatedera ngeriki taata gyeya saalamu:
Yatandika okusooka najjuza wuzuye.
Nayimirira kumusaalogwe nga ayolekedde muqibla nga mugonvu nayaziina nakima esswala bweyamala nata ndika esswalaye, nakuba takibira nga agamba:
[ALLAHU AKBAR] bweyamala nasoma suula ya- alifatiha nagoberezako suula ya- al-Qadr.
Bweyamala okujijjuza nga ayimiridde yesimbye nakutama, bwamala okuterera mukukutama yatendere za nagamba: SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDI
Bweyamala okwatuza ennyukuta esembayo mukutendere zaa nga akutamye, yesimba naterera nga ayimiridde kubigerebye.
Bweyamala okuterera muluyimirira nakka wansi avvuname, bweyaterera mukuvunnamakwe yatendereza nga agamba: [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI] bwamala okujjuza olwatuza olusembayo nga naye avunnamye, yatuula okuva mukuvunnamakwe bwamala okuterera mukutuula naddawo avvuname olwoku biri na someramu nga bweyasomye olwasose:
[SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMUDIHI]
Bweyamala nasitula omutwegwe mukuvunnamakwe natuula ayimirire nga yesimbye kubigerebye kulaaka eyokubiri Bweyatebekera mukuyimirira, nasoma suula ya- al-fatiha, lero kuluno yazzaako suula yatawuhiidi bwamala okugisoma, nasitula emikono gye kulwaqunuutu, nasomera muqunuutuye aya ya- QRUAN: [RABBI IGFIRILI WALIWALIDAYYA WALIMANI DAKHALA BAITIYA MU- UMINA WAL- MUUMINIINA WAL- MUUMINAAT WALATAZDI ZZALIMUNA ILLA TABAARA]
Oluvannyuma nata emikonogye okuva muqunuutu nakka akutame, bweyaterera mukukutama nasoma:
[SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDIHI]
Oluvannyuma naterera nga ayimiride akke mukuvu nnama, bweyavunnama nasomera mukuvunnamakwe:
[SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]
Bweyamala natuula okuva musajida esooka nga ayagala sajida eyokubiri, bweyavunnama nasoma:
[SUBUHANA RABBIYAL A- ALA WABIHAMDIHI]
Oluvannyuma natuula okuva mukuvunnamakwe bweyaterera mukutuula natoola tashahhudi nga agamba: [ASHIHADU ANLA- ILAHA ILLALLAH WAHDA HU LASHARIIKALAHU WA- ASHIHADU ANNAMUHAMMADA ABDUHU WARASUULUHU ALLAHUMMA SWALLI ALA MUHAMMADI WA- ALIMUHAMMADI].
Bwamala okuva mutashahhudi yayimrira neyesimba kulaaka eyokusatu najitandika- nga atendereza :
[SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA- ELAHA ILAA- LLAH WALLAH UAKBARU] emirundi esatu x3nayenga muddobo zi yamukyama.
Oluvannyuma nakutama nasomeramu ngabweyasose [SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMUDIHI] bweya mala nayimirira nga ayimiridde okuva mukukutamakwe nakka avvuname, nasomeramu nga bweyasomye okusooka [mukuvunama: SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]. Bwatyo.
Bweyajimala, nayimirira kubigerebye okuleeta laaka eyokuna eranga yesembayo, najitandika nga bweyatandi ka ezakulembedde nokutendereza nga agamba:
[SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA –ELAAH ILLA LLAHU WALLAHU AKBARU].
Bweyamala nakutama nga bwasoma: [SUBUHANA RABII YAL AZIIMI WABIHAMDIHI] bweyamala nayimirira akke wansi avvuname nga bwasoma [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]bweyamala natuula avvuname olwokubiri era olusembayo muswala gyalimu nasomeramu –ngabulijjo: [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]. Bweyamala natuula nga mutebenkevu aleete Tashahudi nga bwagamba nga bweyaga mbye mutashahudi eyasoose:
[ASHIHADU ANLA ILAHA ILLALLAH WAHDAH ULASHARIIKA LAHU, WA-ASHIHADU ANNAMUHA MMADA ABDUHU WA RASUULUHU, ALLAHUMMA SWALLI ALA- MUHAMMADI WA- AL – MUHAMMADI].
Bweyamala okujjuza tashahhudi natolera salamu kunabbi (saw) ngaagamba: [Asslam Alaika AYYUHANNABI YYU WARAHMATULLAH WABARAKATUHU] bweyamala najjuza swalaye nga agamba:[Assalam Alaina wa- ala ibaadi llah sswalihiina] [ASSALAM ALAIKUM WARAHMATULLAH wabarakatuh].
Bwatyo taata bweyasaala swala ya ISHA ate yali amaze okusaala egifanana mubutiuvu okugeze nga swola ya- zuhuri ne Asri- nga ate zombi zirimu laaka- nnya (4) –wabula mazimaye yasoma suulabbiri mulaaka zaazo esooka ne yokubiri nga agisomera mukyama.
Mazima namugenderera, nga naye asala swala yamagaribi, nemusanga nga agisaala ngabwasaala swala ya ISHA, wabula bweyamala okuvunama olwokubiri nga alimulaaka eyokusatu, yatuula naleeta tashahudi nessalam era nga akomeknkereza swalaye kubanga [swala yamagaribi eri nalaaka ssatu].
Bwentyo nemugenderera nga asaala swala eyoku makya [swala ya subuhi] nemusanga nga asaala nga bweyassadde swalat ISHA, wabula bwamala okuva musajidi eyokubiri nga alimulaaka eyokubiri naleeta Tashahhudi, nakuba salamu kumulundi guno ajjuze swalaye kubanga swala yasubuhi erimu laakabbiri.
Bwatyo taata bweyasaala nga swalaze ezabuli lunaku, wabula mazima nze mukutegeera kwange kwennafuna mukumugenderera nokunyweza nokwekanya ngenda kubabuulira ebimu kubintu ebyeyawulidde esswa la, nga taata bweyazisaala nayenga biri mungeri yapoints:
1- yalinga akwatirwannyo omululu omuyitirivu abeerenga asaala swalaye muntandikwa yekiseerakyayo, nga asaala zuhuri mukiseera a’wo ekiseera kyazuhuri wekituukira [okuchuuka KWENJUBA] era nasaala magaribi muntandikwa yekiseera kyayo bwatyo bwenamubuuza kunsonga lwaki ayanguyiririza eri – sswala muntandikwa yekiseerakyayo, yankubira ekifananyi ne- hadiith yalmam ASSWADIQ (A.S) mweyagambira bwati: [OBULUNGI BWEKI SEERA EKISOOKA- KUKISEERA EKISEMBAYO BULINGA OBULUNGI BWENKOMERERO KUNSI].
2- Yalinga bwayimirira mumaso ga-ALLAH abeeranga asaala, nga bumweyolekako obuwufu bwokutya nokugonda nokwekkakanya –NYA, ebiseera ebimu yalinga addingana wakati womu tonzi nomwoyogwe yekennyini muddobozi ewulikaka na nga tannaba kugenda kumusaalogwe nga agamba:
[QAD AFULAHAL MUUMINUUNA *ALLAZIINA HUMU FISWALA TIHMU KHASHI-UUNA] nga alinga agunjula omwoyogwe ne A’ya eyo nga tannaba kwolekera eri-sswala nakujitandika nabeeranga ajjukiza omwoyogwe nemigaso oba obukulu bwasswala mungeri yokugondamuyo kulwa ALLAH.
3- Yalinga oluberyeberye nga tanaba kusaala subu hi nga asooka kusaalawo laakabbiri, nasaala laaka munaana- laaka bbiribbiri nga subuhi nga tannasaala zuhuri, nendala bwatyo nga tana saala Asri,- nasaala laakannya- laakabbiribbiri nga bwosaala subuhi-oluvannyuma lwa swala yamagaribi nasaala laakabbiri nga atudde oluvannyuma lwaswala ya- ISHA lwalilumu nemubuuza kusswala ezo.
Nagamba: mazimaza nawafilu [SUNNA] ziri ezayogerwa okuva ku-imam Askari (A.S) mazimaye yagamba: [mazimazo KEKAMU KUBUBONERO BWOMUKKIRIZA].
4- Awamu nokubeeranti hamza mukigambo “ALLAHU AKBARU” eyitibwa hamzatul qatwie, kikakafu okubeeranga eyole sebwa bulunginyo kululimirwo singa obeeranga oleeta takibira bwatyo taata bweyagamba.
Namugamba omulundi gwaligumu: mazima abamu mubantu baatuza hamza eno nga efanagana newa wu nga sentence bweyalibadde bweti: “ALLAHUWA- AKIBARU”.
Nagamba: nkwekesa okujatuza nga okwatuzakwa bwe mazimabbo basobya yayongera nagamba:
Bwetyo embeera bweri muhamza [ANI-AMUTA] mu- aya eyekitiibwa musuula yal-fatiha [SWIRATWALLAZIINA ANI-AMUTA ALEIHIM] yyo hamzatul Qatu-e era kikakafu okujoolese kululimilwo bulunginyo mukiseera kyokujatu za era bwotwo mubujjuvu mu-hamza [AL-ALA] muki gambo [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]mukuvunnama yyo hamzatul Qatu-e nayo ekakata okwolesebwa kululimilwo bulungi nga ojjatuza.
5- Taata yagamba: gezaako okuyimirira kunyukuta yaddali mukigambo [AHAD] nga osoma Aya ya qru’an entukuvu musuula yatawuhidi [QUL HUWALLAHU- AU- AHAD].
Oluvannyuma nosaamu mpolampola nga tonaba kujongera ko Aya eddako [ALLAHU- SSWAMAD] ekyo kyekisinga obwangu gyoli era kyekigonvu.
6- Taata yalinga ateeka empeereze kunkomerero yebi gambo muswalaye singa ayatuza eranga agenda mumaso mubigambobye nokusoma ate yalinga abiteekako sakina kunnyukuta esembayo mukigambo ekyokyayimirddeko singa aba ayagadde okuyimirira.
7- Nabuuza taata omulundigumu: nkuwulira mukiseera wosomera ekigambo kya katonda:[BISIMILLAH ARRAHMAN ARRAHIIM] oteeka kasira kunnyukuta ya-miimu mukigambo [ARRAHIIMI] ate nokisoma bwotwo nga osoma [ARRAHMANI ARRAHIIMI* MALIKI YAUMIDDIINI] musuula ya-al-hamdu atenga mpulira abantu abasinga obungi basoma nebateekako zumma nga bali musswala.
Nga bwenkuwulira nga osoma musuula ya-alamdu:
[IYYAKA NA-ABDU] oteeka zumma kunnyuku ya BBA mukigambo [NA-ABDU] atenga mpulira abamu mubantu bateekako kasira nga basaala.
Yaddamu nagamba: abaffe tewasoma kussomo lyanahawu nomanya amateeka ganahawu?
Namuddamu nengamba: nalisoma. naye sikiwanvunnyo.
Nagamba: kiki abamanyi banahawu kyebagamba muku teeka empereze mubigambo bino ebibiri [ARRAHMANI ARRAHIIM]?
Namuddamu nti bateekako kasira ngaggwe bwosoma .
Nagamba: ndetera copy yakurawram entukuvu.
Nengimuleerera copy okuva mukitabo kya ALLAH eyali okumpi nange.
Nagamba: Jayo suula ya-alihamdu ogitunuulire .
Nenzijayo suula ya-alhamdu nensanga nga kasira neyolefu kunkomerero yebigambo byombi [ARRAHMAN ARRAHIIM] nensanga nga ennyukuta ya (B) mukigambo NA- ABDU, mu-aya [IYYAKA NA- ABDU]nga eriko zumma sosikasira nemugamba: mbisanze ngaggwe bwobisoma.
Nagamba: kakati soma nga bwebiri mukitabo kya ALLAH ate wegendereze kunsobi ezabuna mubamanyi era abasomi naawe oleme kuzigwamu.
8- Taata yalinga tatandika kwogera kukatonda mukukutama oba mukuvunnama okujjako nga amaze okutebenkera ku-ALLAH mubujjuvu nga akutamye oba avunnamye.
9- Yalinga bwasitula omutwegwe muluvunnama olusooka awummulam katono okutuusa lwatebenkera mukutuula ate naddawo oluvunnama olwokubiri era bwatyo bweyali akola mukusitula omutwegwe muluvunnama olwokubiri yalinga atuula oluannyuma nayimiriraokuleeta laaka ezisembayo.
10- Lumunamubuuza: nkuwulira nga osomera oba osabira wesabira ggwekennyini, nabazaddebo, nebagandabo aba kkiriza oluvannyuma lweswala direct.
Nagamba: yye, abul hasan (A.S) yagamba:[omuntu BWASABIRA BAGANDABE MUBAKKIRIZA ABAAMI NA BAKYALA ABASIRAMU ABAMI NA- ABAKYALA, ALLAH AMUTEEKERA KUBULIMUKKIRIZA MALAIKA NGA EMUSABI RAKO].
11- Ate namubuuza : nkulaba otendereza ALLAH buli luvannyuma lwaswala?
Nagamba: mazima zo tasibiihi ZA-ZAHARA (A.S) omubaka wakatonda zeyamuyigiriza (saw), era zezino: [ALLAHU AKBARU] emirundi asatu mwena (34) ate [AL-HAMDU-LILLAH] emirundi asatu mwesatu (33) ate [SUBHANALLAH] emirundi asatu mwesatu (33) wonna zibeera tasbiihi kikumi (100).
◘ Abaffe tasbihi za-zahara zirina zirina obulu ngi?
- Yye, mazima byayogerwa nga biva ku imam SWADIQ (A.S) mazima yagambaeri taatawa haruuna (OWANGE TAATA HARUUNA. MAZIMAFFE TULAGIRA ABANA BAFFE TASIBIIHI ZA-HARA (A.S) NGA BWE TUBALAGIRA OKUSAAALA ZENYWE REZEEEKO, MAZIMA OMUDDU BWAZEKWATAKO TABEERA MWONONEFU)
Ate era byava kuye (A.S) yagamba: (TASIBIIHI ZAHARA BULILUNAKU OLUVANNYUMA LWABULI SWALA KYEKISINGA OKWAGALWA GYENDI OKUSINGA ESSWALA EMIRUNDI LUKUMI BULI LUNAKU OLUKUTAMA)
Singa waliyo ekisinga kwekyo obulungi omubaka wa Allah ylikiyigirizza Fatuma kulwekitiibwakye awali omubaka wa-ALLAH nga bwekya yogerwa okuva kuba Imam (A.S).
12- Ebiseera ebimu taata yalinga asaala swala ya zuhuri ate nagoberezako swala ya Asri direct, obanga asaala swala yamagaribi nagoberezakowala ya Isha direct, atenga ebiseera ebimu yalinga ayawula wakati weswala zombi, nassala zuhuri ate nadda kunsongaze, okutuusa ekiseera kyaswala ya-asri lwekituuka nasaala Asri, era bwatyo bwakola kuswala yamagaribi ne Isha.
Bwenamubuuza kwekyo yannyanukula: Ggwe oliwaddembe okulondawo mukugatta oba okwawulamu.
13- Nkuwulira –nagamba taata- Bwosoma suula ya Al-qadri oyolesa enyukuta yalamu singa obanga ekigambo kyakatanda: (INNA ANZALNAHU FII LAILATIL QADR) atenga mpulira abamu mubantu nga tebagyolesa nebeera nga ennyukuta yalamu teriwo nga alinga asoma (INNA ANZALINAHU) atenkuwulira nga osoma (SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDIHI) noteeka zumma kunnyukuta ya ( SIIN) mukiga mbo (SUBUHANA) noyolesa fataha mukigambo (RABIYA) atenga mpulira abamu mubo tebagyatuza nga bwoyatuza?
- Sakugambye nti wegendereze mukusomakwo.
Oluberyeberye nga ekiseera tekinnaba kutuuka ekyokwogera kusswala eyokubiri nagezaako okuzza endowooza oba okwejjukanyamu ebyabadde musswala eyasoose mubirowoozo mbeerenga negezesaamu obuwa nvu bwokutegeera kwange gyekukoma ate mbeere nga mbuuza kwebyo byessakwata oba byessategeera ebanga lyetumala nga tetunnasiibula okwogera kusswala.
Taata yali yakatuuka bwati nemmwanguwira nemmukuba ekibuuzo ekyantewanya nessisobola kukyanu kula, namugamba:
Abaffe kisoboka okusaala swala ya ISHA nga ya laaka bbiri?
- Nedda... sakugambye nti mazima yyo yalaakannya.
◘ Naye mazima nze omulundi gwali gumu nakulaba nga ogisaala mulaakabbiri.
- Twali mulugendo?
◘ Yye.
- Ekyo kituufu, esswala eyelaaka ennya (4)
“swalaat zzuhuri ne Asri ne ISHA”kikakata okuko ma kulaaka bbiri nga muli mulugendo, singa buba bujjudde obulombolombo obwokusala kusswala buno obujja:
1- omutu okugenderera olugendo oluweza amasaafa obuwanvu bwa “44KM” mukugerageranya oba nga lweyongera okuva mukifo wabeera sinsonga olugendo olwo lubeera mukugenda mwokka oba kugenda nakudda.
◘ Nnyanjuluzaamu okusingako awo neeyongere okumanya.
- omutambuze yenna bwatambula nagenda mukibuga ekyesambyeko okuva wabeera (44 KM) nokweyongerayo kimukakatako okukendeeza kumuwendo gwelaaka musswala ennya nasaala laakabbiri zokka.
Nabwekityo bwatambula nagenda mukibuga ekyesa mbyeko (zz km) okuva kukibugakye wasula nabeeranga amaliridde okukomawo eri ekifokye wabeera omulundi omulala mulunaku olwolwenyini.
◘ Mukifoki watandikira okupima obuwanvu bwolugendo?
-Atandikira okupima obuwanvu bwolugendo mukifo omuntu wabala nti wawanvu era nabalibwa nti atambudde lugendo eri-abantu bonna nayenga ebiseera ebisinga batandiikira kumayumba agasemba yo mukibuga gyekikoma eranga wawerawo obuwa nvu bwa (44 km).
2- kwekubeeranga omutambuze agendamumaaso nekigendererwakye singa endowoozaye ekyukamu najjirwa ekirowoozo ekirala awo kyakkola kujjuza swalaye okujjako nga abadde wakudda gyabeera mukitundukye olugendolye olwasose nga lulimu okudda okusinziira kubuwanvu bwolugendo awonno kimukakatako okusala kusswalaye.
3- Olugendolwe lulina okubanga lukkirizibwa muma teeka, singa olugendo lubeera lwaharamu nga ezimu kungendo zabakyala awatali kukkirizibwa nebabba we, oba nga agenderedde haram mulugendolwe nga agenderedde kubba mulugendolwe, awo aba alina okujjuza swalaye, nagenze okuyigga ajjuza swalaye.
4- Omutambuze alina obutayita mukitundu wabeera nayimirira mukyo oba mukifo wawangalira nabeerako awo nga ate akyatambula, era tanuwirira kumala nnakukkumi nokweyongerayo munsi oba ekibuga gyaba agenze, era alina okubanga tasigadde mubbanga nga tamanyi Ddi-lwatambula okuva mukitundu gyagenze okumala ennaku makumi asatu (30).
Kubanga mazimaye mukiseera ekyo asala kuswalaye muntandikwa yolugendolwe era natajjuza.
◘ Singa aba ayise mukitundukye oba mukifo wawanga lira nga ate akyatambula kyokka nawumuliramukyo oba nga abadde mumalirivu okubeera mukitundu gyagenze okumala ennaku kumi nokweyongerayo oba nga asigadde addingana tamamyi akomawoddi mulugendolwe okumala ennaku makumi asatu (30)?
- mukiseera ekyo ajjuza eswalaye, najjuza gyabadde addingana muyo olunaku olwamakumi asatu (30)
ebbanga lyamala nga akyali mukitundu ekyo.
5- Olugendo obutabeera nga gwemulimugwe nga bwayinza okufuna omulimo nayenga gwakutambula nga omuvuzi wemotoka oba omugobi weryato oba omulunzi oba olugendo okumuddingana kulwomuli mugwe oba kulwensonga endala.
◘ Kino kitegeeza : mazima omuvuzi wemotoka ajjuza swalaye wakati mulugendo?
- yye, oyo omulimugwe nga kuvuga motoka mungendo empanvu ajjuza swalaye mubiseera byokukola emirimojje.
◘ Ate omusuubuzi nomusomi nomukozi singa abeera mukibuga kyonna ate nga univasite oba ekitundukye oba senta yokusuubulakwe biri mukibuga oba mukyalo kirala ekyesambyeko kukifo mwabeera 22km nokusoba nga ate atambula buli lunaku oba ennakubbiri okutuuka?
- oyo ajjuza swalaye era tasalako.
6- okubeeranga tali mwaabo abatalina maka nga enjuuye agirina mungalo nga omulambuuzi atalina kitundu oba eyagaana ensiiye nga aliwo kuyingira mubuli nsi kyokka nga talinaamu-kifo.
◘ Ddi omutambuze lwatandika okusala kuswala?
- kikakata okusala kusswala nga amaze okukuba amabega kwebyo abantu bekibugakye weba komya amaaso gaabwe okulaba kulwesambalwe okuvakubo, akabonero kunsonga-eyo kwekubeera nti takyaddayo kulaba bantu baatuula nabo mu tawuni wabeera mukiseera ekyo wasalira kusswala.
◘ Wagamba: singa omutambuze ayita kukitundukye natuula mukyo aba-alina okujjuza swalaye, naye kiki kyogenderera mukitundukye?
- Ngenderera mukitundu eri:
a- Obutuuzebwe obwensibuko era nga yebeera abazaddebe nokuzalibwakwe bulijjo.
b- Ekifo omuntu kyeyafuula nga bwebutuuzebwe oba awokubeera yekennyini mubuwangazibwe bwonna.
c- Ekifo kyeyafuula nga bwebutuuzebwe ebbanga ggwanvu era bwakibeeramu tayitibwa mutambuze.
◘ Amakulu gegano.
1- Singa omutambuze aba-ayise kukitundukye natuulamu.
2- Singa agenderera okubeera mukifo kyonna ennaku kumi ezomuddiringanwa oba okusingawo eyo gyaba agenze.
3- Singa agenda mukitundu kyona nasigalamukyo ennaku (30) nga abuusabuusa tamanyi ddilwakomawo mukitundukye, mazima omutambuze ajjuza swalaye era tasalako?
- yye.
◘ Singa atambula natatuukibwako kintu kyonna mubintu ebyo ebisata ebyakulembedde?
-Asala kuswalaye. Buli mutambuze nga olugendo luweza (44) km nokusobamu okuva mutawuniye alina kusala kuswalaye, okujjako nga yewunzise ko mukitundukye oba namalima okumala ennaku kumi.... oba.
- Yye... yye.
◘ Singa ekiseera kyesswala kituuka nga ate mutambuze naye nga ebiseera byolugendo tebi nnaba kutuuka oba nga akomyewo munsi oba mukitundukye kati asaala atya mukitundukye?
- Ajjuza swalaye, kubanga wasaalira asaalira mukitundukye.
◘ Ebiseera ebimu ndaba abantu nga basaala swala ya Jama-a nebakutama nebavunnama bonna.
- Mazima bbo basaala swalazaabwe ezaabulijjo naye mujjama-a sibuli-omuyiye.
◘ Ngeriki gyetusaalamu swalayaffe mu-Jama-a?
- Singa bakungaana abantu babiri oba okusingawo kyokka nga omu-kubombi alina obubonero obu mukkirizisa okubeera imam waJama bakkirizi bwa okumukulembeza abasaalise Jama, bafu ne empeera eyenyongeza.
◘ Bwekiba bwekityo swala yaJama erimustahabbu?
- Yye era erina empeera-nnene naddala nga osaalidde mabega wamumanyi nabuli lwekweyongerako muwe ndo gwabantu nga nempeera yeyongerako.
◘ Obulombolombo bwa imam waJamaa bwe buliwa buli bwoyogeddeko mumboziyo?
- Imam wajama alina okuba mukulu, alina ama gezi simulalu, mukkiriza, mwenkanya tajeemera muleziwe asoma bulungi, okuzalibwakwe kwashariya, musajja singa amugoberera musajja.
◘ Tunamanya tutya nti ono musajja mukkiriza, mwe nkanya tusaalirer emabegawe?
- kimala okumulabira kubulungibwe kungulu.
◘ Abaffe imamu yetagisamu obulombolombo obulala?
- Yye- alina okubeera nga tateekebwangako kibonerezo kyamateeka (sharia) era alina kusaala nga ayimiridde singa amugoberera aba ayimiridde, era alina kwolekera eyo amugobere ra gyatunudde tekikkirizibwa eri oyo akakasa nti Qibla erimusaidi akulembere oyo amanyi nti Qibla erimusaidi ndala, era walaaye erina okubeera kusaidi yomugoberezi nga ntuufu, singa imam afuna wuzu namazzi amakyafu nga tamanyi bukyafu bwago atenga omugoberezi akimanyi awo takkirizibwa kubeera imamuwe.
◘ Nsaalantya esswalayange nga yaJama?
- olonda omuntu omutngole nga alina buushuru utu “obulombolombo obwa imamu-waJama obwogeddwako, noyimirira kuddyowe singa obeera omuwekka nga omuliiko emabega singa muba babiri oba bangi awatali kiziyiza.
Wakatiiwo naye nga ekisenge, era awatali kubeeranti ekifokye kisitufu okusingako ekikyo mukuyimirira kalombolombo okubanti tewa beerawo kabanga kanene wakatiiwo no’yo gwogoberera oba oyo akuli kulubiriizi.
◘ Bwekiba Bwekityo tugambe nti abasaala baleme kuleka wakati-waabwe kabanga kenkana mita oba okusingawo.
- Yye- era kimala omuntu asaala okukwatagana nemunne newankubadde kuludda lumu, kimala okukwata gana nomusaaze ku-imamuwe omusaaze kuddyoowe oba kukkonoowe, kimala okukwatagana nomukubo.
◘ Oluvanyuma lwekyo kiki ekiddawo?
- lmamu waJamaa bwatoola takibira nga atandika swalaaye nabamugo berera batoola takibira, bwasoma suula AL-Hamdu ne ssuula eddako abamu goberera bbo tebagisoma bwagisoma amalirabonna okusoma kwabwe imam yaba nomulimu gwokuba somera, bwakutama nga bakutama emabegawe, bwavvu nama nabo bavvu nama emabegawe, bwatuula batuula, nekisinga obulungi kubo kwekuleeta tasha hhudi oluvannyuma lwatashahhudiye, era neba toola salaamu oluvannyumalwe.
◘ Abaffe nsoma okujjukira ALLAH mukuvunnama kwange nemukukutama nemukuleeta tashahhudi,? yye abaffe mulaaka eyokusatu neyokuna nsomeramu Tasbiihat, oba nsirika nennyimirira kululwe?
- Soma nga bwobadde osomanga osaala obwomu, yogera ku-ALLAH nga okutamye nemukuvunnama ne mukuleeta eyokusatu neyokuna ezisembayo nga bwomanyidde okujjako okusoma essuula ebbiri zo azikusomera imamu, olvannyuma olina okumu goberera mubyonna.
◘ Kiki kyogenderera?
- Ngendereramu mukyo nti olina okugoberera imam waJamaa buli mukikolwa kyakola musswala, singa akutama kutama naye, vunnama naye, bwasitula omutwe okuva musuJuudi nawe ositula omutwegwo wamu naye, bwotyo tomukulembera mubikolwa ebyeswala.
◘ Ddi- lweneyunga ku-lmamu waJamaa?
- Omweyungako lmamu waJama nga ayimiridde oluva nnyuma lwokukubakwe takibiratul lhrami oba nga akutamye.
◘ Singa mweyungako nga asoma suula ebbiri sisoma suula zombi kubanga ye-azinsomera wo nga bwogambye, naye bwaba akutamye awo mmweyungako ntya?
- kuba takibira eyeswalayo oluvannyuma kutama direct okutuusa imam waJama lwamala okukuta makwe nayimirira, oyimirira naye.
◘ Ate okusoma kwange essuula ebbiri?
- Okuzisoma zombi kubakufudde singa omweyungako nga akutamye.
◘ Singa mmusanga nga ayimiridde mulaaka eyokusatu asoma tasbiihi mulaaka ebbiri ezisembayo?
- leeta takibira oluvannyuma soma suula bbiri muddo boozi eyekyama.
◘ Singa ekiseera tekinzikiriza kuzijjuza?
- Soma suula ya AL-Hamdu yokka.
◘ Kisoboka okweyunga ku-imam waJamaa nga asaala Asri kyokka nga nze nsaala zhuhuri?
- Yye, kikkirizibwa okweyunga kujama-a, newankubadde nga swalayo eyawukana neya lmam mukwatuza ne mukyama, oba mukujjuza nemukusalako, oba mukuli wa nemukutukiriza.
◘ Abaffe abakyala balina Jama-a nga abaami?
- yye, kikkirizibwa eri omukyala okusaala swala ya Jamaa emabega wo mwami-omusajja –oyo alina obu lombolombo bwa imamu waJamaa, obwayogeddwako, nga bwekikkirizibwa eri omukyala okufuula mukyala munne nga imamuwe, naye omukyala bwasaaza bakya la banne- kikakata ayimirire mulaini yabwe awatali kubakulembera-nga bwekiri ku-imamu wabasajja.
Naye abakyala bwebasaala nabaami kikakata kubo basaalire emabega wabasajja oba kulaini yabwe nayenga waliwo ekiziyiza okutabagana nga ekisenge.
◘ Eyo-yeswala yajama-a, wabula nze mpulira esswala eyitibwa swala ya Juma.... abaffe yyo-ndala kuzino zombuulidde?
- Yye, mazima yyo erimu laaka bbiri nga swalati ssubuhi, wabula Juma eyawukanako kubeeramu khutuba bbiri oluberyeberye mukiseera imam wayimirira nayogera muzo zombi ebisimisa ALLAH era nebigasa abantu.
Ekitono ennyo ekimukakatako mukhutuba esooka: kutendereza ALLAH- mululimi oluwarabu nakumwebaza! okukutira okutya ALLAH nasoma suula enyimpi muquru-an bwamala natuulamu katono asobole okuyimirira omulundi ogwoku biri mukhutuba eyokubiri:
Atendereza ALLAH, nasaalira kunnabbi muhammadi nekubantube nekuba imam babasiramu (A.S.) nekisinga obulungi kusabira bakkiriza abaami nabakyala ALLAH abasonyiwe (isitigfaari) ebyononobyabwe.
◘ Abaffe waliyo Bushuruutu obujikakasa?
- Kalombolombo mukukakata kwayo okuyingira ekiseera kya Dhuhuri, balina kukungana bantu bataano nga ne imamu wajamaa era imamu wayo alina okubanga alina bushuruutu “obulombolombo” bwetwayogeddeko okusooka mu imamu wajama.
Singa swala ya-Juma eyimirizibwawo mukitundu ekyakunganya obulombolombo bwabeera nga ajiyimi rizaawo ye imaam ma-asuumu oba oyo amumyuka kikakata kubasajja bonna abatuuze bokukyalo ekyo okujja bajisaale nga tewali buzibu bwankuba oba obunnyogovu obususse, nga balamu sibalwadde yadde obuzibe bwama’so okujjako omukadde omukulu oba omutambuze bajje bajisaale okuva ku (11) km mukugerageeranya.
Singa agiyimirizaawo siye imam ma-asuum era nga siyoyo amumyuka awo tebeera nkakafu kujijjamu awo kikkirizibwa okusaala swalaati zuhuri.
Singa omuntu asaala swaala swala yaJuma eri obushurutu “obulombolombo” bwonna era najisaala mujjamaa akoma kweyo nata saala swala yazuhuri.
Ekisigadde kulaza kunsonga bbiri:
1- mazima swala yaJuma nkakafu mukweronderako, singa omuntu afuna obulombolombo bwayo agisaala oba ssekyo asaala swalat-zuhuri nayenga Juma yesinga obulungi.
2- Kyetagisa okubeera nga wakati waazo zombi okuva kuJuma weri okutuuku kujuma endala gyeri nga wasukka ku (5) km mukugerageranya.
◘ Njagadde okkubuuza ekibuuzo naye kinkwasa ensonyi okukibuuza.
- Buuza kyoyagala MUDDIINI temuli nsonyi.
◘ Bwemba sisadde ezimu kusswala enkakafu kulwo tulo, oba bugayavu, kulwobutafaayo nobusiru, oba nga mbadde ngisadde nga nnyonoonefu nga nekiseera kiweddeko?
- Kikukakatako okuziriwa singa ebadde yalwatu nga eyasubuhi nemagaribi ne ISHA oziriwa mu lwatu, ate bweba yamukyama nga swala ya zuhuri ne Asri oziriwa muddoboozi eyomukyama bweba yakusalako oJiriwa mukusalako bweba yakujjuza ojjiriwa nga nzijuvu.
◘ Abaffe kisaana okuliwa zuhuri nga okukyuka kwenjuba kusembedde ate okuliwa ISHA nga ekiseera kya isha kisembedde nengeda bwentyo?
- Nedda wabula kisaanira okuliwa buliswala yonna gyoba osubiddwa, kaki beere nga ekiseera kyoku liwa kiro oba misana oyinza okuliwa subuhi olweggulo bwotyo.
◘ Bwemba simanyi swalammeka ezampitako, kati mba ndiwammeka?
- Saala zewekakasa muzo nti zikuyiseeko eranga tozisaalidde mukiseera kyazo, naye-ezo zobu usabuusamu mukuyita kwazo tezikakata kuziriwa.
◘ Nkubirayo ekyokulabirako.
- Bwokakasa nti tosadde swala yasubuhi okuva mumwezi gwarajabu oba olina okuliwa swala okumala omwezi mulamba eya subuhi.
Naye bwofunamu shakka “okubuusabuusa” nti obanlibwa oba tezikubanjibwa awo oba tokakasibwako kuzi riwa.
Ekyokulabirako ekirala : bwoba tomanyi nti tewa saala swala yasubuhi okumala omwezi mulamba oba ekiseera kiwanvu, no’beera nendowooza zami rundi ebiri: oba obanjibwa omwezi gumu, oba obanjibwa mwezi nennaku kkumi (10) mukiseera ekyo okkirizibwa okusaala omwezi gumu noko ma kwogwo awatali kwongerako.
◘ Abaffe kikakata okuliwa ezituyiseeko mangu awatali kukeerewa?
- Nedda, kikkirizibwa okukeerewa awatali kunyoo ma na kwesonyi wa nti tojja kuzisaala era nkukuu tira oliwe swala zonna ezakuyitako mulunaku olwo lwennyini mwezikuyitiddeko, bwoba tozukuse kusaala subuhi gezaako okuliwa subuhi nga zuhuri tennaba mulunaku olwo lwennyini oba oluvannyuma lwazuhuri zireme kukuzibuwalira ALLAH akukingirize okunyooma swala mukuziriwa akusobozese okuzituukirizamubiseera byazo-ebya zigererwa.
◘ Leka tuddeko emabega katono muntandikwa yokwogera kusswala eyasoose ogambye nga olimukubala swala zonna eziri-waajibu-enkakafu mubaddemu swala omuzadde gyeyaleka nebeera wajibu kumwanawe omukulu okujimuliwira singa taata teyagiriwa okutuusa lweyafa.
- Yye, kikakata kumwana omukulu okuliwa swala ya faradha singa omuzadde teyagisaala kulwekisonyiyisa oba teyagiriwa awamu nokuba nti yali asobola okugiriwa okutuusa lweyafa no’mwanawe omukulu natabeera mukendeevu muki seera weyafiira era nataziyizibwa mukumusikira akkirizibwa okupangisa omuntu yenna omulala agiriwe mukifokye.
◘ Wambuuliddeko kuswala ya-A’YAAT-.
- SAWLAT- A’YAAT- ekakata kubuli mukulu yenna awalirizibwa namateeka geddiina okujjako owahaizi (mp) ne-Nnifasi.
Mukiseera enjuba webikirwako oba omwezi oku bikkibwako newankubadde kitundu ne-musisi-nga ayita kisaana okugisaala buli kukitiisakyonna ekyomuttaka oba kunsi nga omusana okukwata enzikiza bwekiba kifunyisizza okutya eri abantu abasinga obungi, swala ya-A’YAAT- esaalibwa obwomu nga Khusuufu zombi bwezi saalibwa mu-Jama-a.
◘ Ddi swala ya-A’YAAT- lwesaalibwa?
- Nga enjuba nomwezi bibikiddwako muntandikwa yabyo okutuusa omwezi nenjuba lwebibikkulwa.
◘ Ate mu-musisi ne-ggulu nabuli kintu ekyawaggulu oba ekyawansi nga kitiisa?
- Esswala yabyo teriko kiseera kigere, wabula esaalibwa kulwabwokka bwakuzuukawo bintu ebyo okujjako nga ekiseera kigazi ekya A’ya awo esaalibwa nga ebbanga terinnaba kuggwaka.
◘ Ekyo kiri kitya?
- Oleeta takibira okusooka bwomala nosoma suula al-fatiha nozzaako suula ennamba endala bwomala nokutama, bwositula omutwegwo okuva mukukutama osoma al-fatiha omulundu omulala nessuula endala nzijuvu ogenda bwo tyo paka lwojjuza olukutama olwokutaano.
Bwositula omutwe okuluvaamu okkawansi obee renga ovunnama novunnama emirundi ebiri nga bwobadde ovvunama bulijjo musualazo.
Oluvannyuma nosituka oleete laaka eyokubiri era okola nga bwewakoze mweri eyasoose mubu jjuvu.
Bwomala noleeta Tashahhudi nokuba salamu bwotyo nojjuza swalayo, awo nekitegerekeka nti ebeeramu enkutama kkiumi naye nga laaka ziribbiri bbiri.
Neyo waliyo ekifananyi ekirala ekyeswala e’no tekyetagisa kukyogera kulwokuyita mubufunze.
◘ Singa enjuba oba omwezi bikwatibwa naye nessimanya kuzuuka kwabyo okutuusa lwebiggwa wo bulikimu nekiggwa nga sitegedde?
- Singa kusuufu ne khusuufu bibuna nebibika omwezi gwonna oba enjuba yonna awo olina okuliwa bwebiba tebibunyisizza nebiba byakitundu nga bikutteko kitundu kyamwezi oba kitundu kya njuba tekikukakatako kuliwa.
◘ Abaffe musisi neggulu?
- Bwewayitawo ekiseera ekikwatagana nokuzuuka kwabyo notasaala kulwensonga yonna swala eba efudde.
◘ Abaffe kikakata kunze okusaala swala ya-A’yaati singa kusuufu nekhusuufu bizuukawo mukifo kyonna wembeera munsi?
- Nedda, wabula ekakata kuggwe swala mukiseera kusuufu nekhusuufu webigwiira mukitundu-kyo nawaddirira kunsiiyo nga mwegatta mukuwulira singa aba agudde tekikakata kuggwe swala singa ekizuusi kigwa mukifo mubifo byensi ebikuli ewala.
◘ Wangambye: mazima swala eziri wajibu neziri mustahabbu notanyumikizaako kwezo eziri mustahabbu?
- Mazima zonyingi ekifo tekinganya kuzoogera wano, no’lwekyo ngenda kukoma kuzimu-muzo.
1-esswala yekikiro nekisinga kugisaala mu (1/3) ekisembayo mukiro oba kusaawa mwenda, nabuli lwebusemberera fajiri okuvaayo kyeki singa obulungi, nayo erimu laaka munaana omuntu asaala akuba salaamu buli kulaaka bbiri muzo nga swala yasubuhi, bwamala ekyo, na’saala SHFA-E erimu laaka bbiri, bwamala nasaala witiri yalaaka emu wonna zelaaka kumine’mu (11).
◘ Njigiriza ngeriki eyokusaalamu witiri nga nayo yalaaka emu?
- Kuba takibira okusooka oluvanyuma osome AL-hamudu kyagalwa okusoma oluvannyuma lwayo suula yatawuhiidi emirundi esatu ate nesuula ebbiri Nnansi ne FALAQ, oluvannyuma nositula emikonogyo kulwe-DU’A- nosaba kyoyagala.
Ate kirimustahabbu kuggwe okukaaba kulwo kutya ALLAH, era osabire abakkiriza (40) ALLAH abasasire noyogera amannyagaabwe, era ogambe emirundi (70) ASTAGFIRULLAH- RABBI WA- ATUUBU- LLAIHI ate ogambe emirundi (7) “HAZA MAQAMUL- AEDHI BIKA MINANNARI” ate emirundi (300) (AL-AFUWU) bwomala kutama ovunname nga bwobadde okuta ma novvunama muswalazo ezabulijjo bwomala leeta tashahhudi okube salaamu.
Oyinza okukoma ku-shafu-e ne-witiri emu kuzombi, wabula kimala witiri yokka naddala nga ekiseera kifunda.
◘ Obulungi bwaswala esaalibwa ekiro bwebuliwa?
- Swala yekiro erina ebirungi bingi era binene, imam SWADIQ (A.S) yagamba: Nabbi (S.AW) yagamba mukula mira ALI (A): “olina okwenywereza kuswala eyekiro olina okusaala ekiro, olina okusaala ekiro”
Ate byava ku-Nnabi (SAW): “swala eyalaaka bbiri wakati mukiro yesinga okwagalwa gyendi okusinga Dunia nebijirimu” ate byava ku-imam ABi- ABDILLAH (A.S): mazima yamujjira omusajja namusindira kukyetaago kye nayitiriza mukusinda okutuusa lweyasemberera okusinda enjala, Abu-Abdillah namugamba: “owange ggwe osaala ekiro”? omusajja naddamu nti yye, Abu-abdillah natunula kumunne nagamba:
“Alimbye oyo akakasa nti assala ekiro ate nalumwa enjala emisana: mazima ALLAH owekitii bwa yeyimirira neswala yekiro ekyokulya kyemi sana”.
2- Swalatul- wahshwa – ekiwubaalo – oba obudde bwokuziika: ekiseera mwesalirwa obudde obuso oka mukuziika musaawa yonna gyoyagala muzo, nayo yalaaka bbiri osomera mwesooka olu vannyuma lwa-AL-HAmdu – Ayatul kurisiyyu oku tuusa kukigambo: “HUMU FIIHA KHALIDUUNA” nosomera mulaaka eyokubiri oluvannyumalwa al-hamdu suula ya al-Qadri emirundi kumi(10) ate oluvannyuma lwa tashahhudi nesalamu ogamba: “ALLAHUMMA SWALLI ALA muhammadi wa- AL- MUHAMMADI WABU- ATH- THAWABUHA ILA Qab uri FulaN” noyogera omufu erinnyalye.
Ne’yo waliyo engeri endala yokusaalira mu swala e’no genda mubitabo byafiQuhu bwoba nga oyagala okujitegeera.
3- SWALAT GAFIILA: nayo laaka biri wakati wa magaribi ne isha, osomera mulaaka esooka oluvannyuma lwa-al-hamdu- Ayatul kursiiyyu:
“WA-ZANNUUNI IZ-ZAHABA MUGADHIBA FADHANNA AN- LAN- NAQDIRA ALAIHI FANADA FII-ZULUMAA TI AN-LAA-JLAHA JLLA-ANTA SUBHANAKA INNI KUNTU MINAZZWALIMIINA@ FASTAJABNA LAHU WA NAJJAINAHU MINAL- GAMMI WAKAZALIKA NU- NJIL- MOUMINIINA”.
Nosomera mulaaka eyokubiri oluvannyuma lwa al-hamdu a’ya eye ekitiibwa:
“WAJENDAHU MAFATIIHIL- GAIBI LAYA- ALAMUHA ILLA HUWA WAYA-ALAMU MAFI- L-BARRI WAL-BAHRI WAMA TASQUTU MINI WARAQAT ILLA YA-ALAMHA WALA HABBATI FIZULUMAATIL- ARUDHI WALA RATBI WALA YA-ABISI ILLA FIKITAABIN-MUBIINI”.
Oluvanyuma nositula emikonogyo muDdu’A nogamba: “ALLAHUMMA INNI AS-ALUKA BIMAFATIHIL GAIBI ALLATII LAYA- ALAMUHA ILLAH ANTA ANTU SWALLI ALA MUHAMMADI WA-A’L MUHAMMADI WA-ANTAFU-ALA BEE KAZA WAKAZA” awo noyogera ekyetagokyo bwomala nogamba:
“ALLAHUMMA ANTA WALIYYU NI-AMATI WAL-QADRU ALATWALABATI TA-ALAMU HAJATI FA-AS-ALUKA BIHAQQI MUHAMMADI WA-A’L-MUHAMMADI WA-A’LIHI ALAIHI WA-ALAIHIMU SSALAMU LAMMA QADHAITAHALI” oluvannyuma nosaba ekyetago kyo mazima kimali bwa nokwagala kwa- ALLAH.
4- Swala eyomulunaku olusooka buli mumwezi: nayo erimu laakabbiri osomera mulaaka esooka oluvannyuma lwa al-hamdu suula yatawuheedi emirundi (30), bwomala nosaddaaka ekikwanguyira mulaaka eyokubiri osomeramu suula al-Qadri emirundi (30), nga ogula nekyosadda’ka obulamu bwomubiri kirimustahabbu okusoma ezimu ku-AYAAT zaQur,an ezeyawulidde oluvanyuma lwayo.
5- Swala ya imam Ali (A): erimu laaka nnya osaalabbiri- bbiri nga bwosaala subuhi osomera buli mulaaka suula ya AL-hamdu omulundi (1) ne-suula yatawuheedi emirundi (50) ataano imam Ali (A) agamba: “omuntu bwasaala laaka nnya nga asomera buli mulaaka “Qul HUWALLAH AHADU” emirundi ataano (50) tewasigalawo lutambi lwabyonono wakatiiwe newakati wa-ALLAH.
6- Swala eyokwanguya esonga enzibu:
Erimu laaka bbiri, imam Abu-Abdillah (A.S) yagamba “ singa ensonga ekuzibuwalako saala laaka bbiri osomera mwesooka suula ya al-fatiha ne “Qol HUWALLAH AHADU” ne “INNA FATAHNA” okutuusa kukigambo: “WAYANSURUKALLAHU NASURAN- AZIIZA” ate mulaaka eyokubiri AL-fatiha ne “QOL HUWALLAH AHADU” ne “ALAM-NASHIRAHA LAKA SWADRAKA”.
Taata yatandika embooziye ekwata kumwezi gwaramadhani era muddobooziye ejjereere nga akanka na, nga ate mumaasoge mukunkumuka amaziga, ate nga mumwoyogwe mulimu okusinda nga kujula kugwabisa. Erinnya lya Ramadhani lisembera waali namakulu gonna agawoomerera amalungi agasaanira okuwulira nga mulimu okusonyiwa nemikisa nokusaasira nokusonyi Wa nokusiima.
Kulwokubeera nti ayagala okunyweeza okumatira kwe kuli, eraanyweeze okumanyakwe, yanzijulula nantwala eri ekifo ekirabibwamu nga kijjuvu kya kawoowo kobugulumivu nessanyu lyokwagala... mukifo omubaka (SAW) weyayimirira nga ye sitenseni ya’bantu benjuuye nemikwano gye nga ababuulira nagamba:
“Abange mmwe abantu mazima gwolekedde omwezi gwa- ALL-AH- nemikisa Nokisaasira nokusonyiwa ku mmwe, guno omwezi gwegusinga obulungi emyezi gyonna ewa ALLAH, ennaku zaamu zisinga ennaku zonna, ebiro obudde mugwo businga obudde bwonna, essaawa zagwo zisinga saawa zonna, gwemwezi gwemwayitibwa mugwo nga muli mubagabirwa ba-ALL AH< okussa kwammwe mugwo kubeera tasbiihi, okwebaka kwammwe mugwo ebeere lbaada, emirimu gyammwe mugwo gikkirizibwa, okusaba kwammwe mugwo kwanukulwa, musabe ALL AH omulezi wammwe nenniya ezamazima, nemitima emitukuvu abasobozese mukusiiba kwammwe nokusoma Qur,an mazima omwononefu yeyammibwa okusaba okusonyiyibwa mumwezi guno ogwekitiibwa.
Abange mmwe abantu mazima emiryango gyajjana mumweezi guno miggule, musabe omulezi wammwe obu tabaggalira bweru, ate emiryango gyomuliro miggale musabe omulezi wammwe aleme kujiggulawo kummwe, ate sheitaani nsibe, musabe omulezi wammwe ale me kujibasindikirako”.
Oluvannyuma yanjolekeza kusaidi endala mukhu tuba zannabbi owekitiibwa (S.A.W.), nga alabikanga ayagala okulaza kwekyo ekinsaanira okukikola mumwezi guno ogwemikisa, bweyamala nansomera ekigambo kyomubaka wa-ALL AH- (S.A.W.):
“Abange mmwe abantu omuntu mummwe bwaasiibulula omusiibi omukkiriza mumwezi guno, munsonga eyo aba alinamu empeera eyokuta omuddu eri ALL AH nokuso nyiyibwa ebyo ebyayita mubyononobye, kyagambibwa owange omubaka wa- ALL AH – sibuli nti o’mu muffe asobola okukola bwatyo, omubaka (S.A.W.) yagamba: mutye omuliro newankubadde nakatundu kantende omutye –ALL AH- newankubadde nalwendo lwamazzi, kubanga mazima-ALL AH- agaba mubintu ebyo empeera eri oyo aba akoze ako akatono bwaba tasobodde kukingi kusingawo...
Abange mmwe abantu omuntu olongoosa mummwe muguno omwezi empisaze aba-alina olukusa olumu kkiriza okuyita ku- sraatwa olunaku ebigere lwebige nda akuseerera, ate omuntu akendeeza muguno omwezi ebyo omukonogwe byegwafuna ogwaddyo ne ALL AH agenda kukendeeza kukubalibwakwe. Omuntu bweyekomako kubibiibye mumwezi guno ALL AH agenda kukendeeza kubusungubwe olunaku lwagenda okumusisinkana, omuntu asomeramu Qru’an abeera nempee ra eyomuntu amazeeko Qru’an mumyeezi emirala, omuntu agulumiza mugwo mulekwa ALL AH agenda kumugulumiza olunaku lwagenda okumusisinkana, omuntu bwayingira mugwo olulyolwe ALL AH agenda kumuyunga nokusaasirakwe olunaku lwagenda okumusisinkana, omu ntu bwakulawo’luyolwe mumweziguno ALL AH agenda kukutulawo okusasirakwe olunaku lwagenda okumu sisinkana”.
Bweyamala okukomekkereza embozi e’yo ekwata ku- kutuba yannabbi (S.A.W.) okutuusa lweyakangula kuddoboozi era nakalabula abamu kwaabo abasiibi abalowooza nti okusiiba kweziyiza kulya nakunywa byokka, nga akakasa okukalabulakwe ne hadiith ya lmam ALI (A) yagamba –muyo: “Bameka abasiiba nayenga mukusiiba kwabwe tebafunamu okujjako ennyonta, ate bameka abayimirira okusaala nayenga mukuyimirira kwabwe tebafunamu okujjako obukoowu.”
Bweyamala nayongerako ne-hadiith endala eya- lmam swadiq (A) yagamba muyo: “Singa obukeesa nga osiibye kirungi namatuugo gasiibe na’maasogo nenviirizo ne ddibalyo nebiyungobyo byonna.”
Bweyamala nagamba (A): “mazima okusiiba tekuli mummere nakunywa byokka, bwemuba musiibye mugezee ko okukuuma ennimi zammweobutalimba, era mukkakka nye kumaaso gammwe okuva kwebyo ALL AH byeya ziyiza, temuyombagana, temukoleragana nsaalwa, temu geyangana era temuvumagana, temulyazamanyanga... mwewale ebigambo byakalebule, no’kulimba, nokuyomba, nendowooza embi, nokugeya, olugambo, mubeere ekyoku labirako eri abalala, nga mulindirira ennaku zammwe mulindirira ALL AH kyeyabalagaanyisa, nga mwesibira entanda eyokusisinkana ALL AH, mulina okubeera abe kisa no’bukwaata mpola, okugonda nokwewombeeka, era abaddu abatya mukama waabwe abakkakkamu batiiraddala nga basuubira”
Nagamba kitange nga nfunye okutya no’buyitirivu bwokugonda nga butiisa: bwekiba bwekityo kiba kinkakatako okusiiba omwezi gwa Ramadhani mu guno omwaka, naye mmamya ntya nti omwezi gwa Ramdhani gutondise nange ntandike okusiiba?
Ekyo okitegeera nakunyweera kwakulaba mwezi gwa Ramadhani munsiiyo oba munsi eri okumpi neyiyo eyo gyemwegatta nayo mubiseera ekitegeeza nti omwezi bwegulabika munsi eyo newammwe gulina okulabika singa tewabawo kiziyiza nga ebire oba enkuba oba olusozi nebibifaananako.
Oluvannyuma kitange yannyumiza ekyafa’yo kyazuuka wo nomubaka wa-ALL AH- (S.A.W.), mazima yawulira Nabbi (S.A.W.): omukazi nga avuma omuwala nga naye asiinbye, omubaka wa- ALL AH (S.A.W.) namuyitira emmere namugamba:
“Lya emmere” omukazi nagamba: mazima nze nsiibye owangeggwe omubaka Wa – ALL AH. Omubaka wa-ALL AH nagamba “obera otya nga osiibye atenga ovumye muwalaawo mazima okusiiba tekuli mummere nakunywa wabula ALL AH ekyo yakifuula Jjiji kubisigaddeyo mubyobuwemu mubikolwa nemubigambo, kiki ekyayitiriza okulumwa enjala ate okusiiba nekukendeera.”
◘ Okulabika kwomwezi kukakata naki?
kukakata nabino ebijja:
Okulabaemmasuka yomwezi gwekennyini.
Okujulira abajjulizi babiri nga benkanya nti bagula bye awamu Na’butamanyaabwo mukubusizibwa kwabwe era nga tewali agaana kujilira kwabwe.
Walina okuyitawo ennaku makumi asatu (30) kumwe zi gwa SHABANI nomanya nti omwezi gwashabani guweddeko nokakasa era notandika nomwezi gwa ramadhani mulunaku.
Okusansaana mubantu nti omwezi gwa Ramadhani gulabise nokakasa oba nofuna obutebenkevu mu kulabika kwagwo.
◘ Singa mbasitegedde muntandikwa yekiseera abaffe okulabiika kwomwezi kukakase nsiibe oba tekukakase? Abaffe nsiiba nga ate simanyi nti olu naku lwenkya lwelusembayo mu-sha, bani oba lwelutandika mu-Ramadhani?
Lusiibe nga osiiba nti lunaku musha,bani, bwekikakata oluvannyuma Mubiseera byemisana nti lunaku mu-Ramadhani okyusa Niya okuva musha,bani nodda mu-Ramadhani nerukubalibwako muramadhani tewali-tabu. Okkirizibwa obutasiiba lunaku lwobuusabuusamu.
◘ Mmanya ntya okuggwako kwomwezi gwa Ramadhani era omwezi gwa showwali gutandise nsiibulukuke?
Ekkubo elyasoose lyennyini lyewategedde nalyo entandilkwa yomwezi gwa Ramadhani, era nolaba emmasuka ya showwali gwe kennyini oba...oba...
◘ Yye...yye. Singa kikakata gyendi nti omwezi gwa-Ramadhani gulabase?
- Kikakata kuggwe okusiiba nabuli kumusiraamu yenna omukulu, ategeera, nga talina buzibu mukusiiba, nga waali siimutambuze, era nga amagezige simabikke gaako ate kusaidi yabakyaala kikakata kumukyala okusiiba nga mutukuvu talina haizi yadde Nifasi, owa haizi (M.P) ne nifasi tasiiba, ate aliwa ennaku ezamuyitako mu kusiiba omwezi gwa Ramadhani oluvannyuma nga awo nye.
◘ Singa omuntu agaana okusiiba kulwokwetiisa yekennyi ni?
Omuntu atya kennyini okufuna obulwadde tasiiba obanga buyinza okuyitirira, oba okulwaawookuwona oba okweyongerako obulumi ebyobyonna okusinziira kuki gero ekisusse ekitasoboka kuguminkirizibwa.
◘ Ate omutambuze?
Singa atambula nga enjuba emaze okukyuka asigala nga asiibye, ate bwatambula nga fajiri tennaba awo asiibulukuka.
◘ Singa atambula oluvannyuma lwa alfajiri?
Bwatambula Ngafajiri eyise okusiiba kwe tekuba kutuufu sinsonga oba anuwiridde okutambula nga kiro oba tanuyiridde ate alina okuliwa.
◘ Bwemba njagadde okusiiba nsiiba ntya?
Omalirira okusiiba muntandilkwa ya alfajiri okutuusa enjuba lwegwa nga kwesembeza eri ALL AH omugulu mivu.
◘ Okusiiba tekitegeza kweziyiza kulya?
Yye.
◘ Singa Nnuwirira okusiiba biki byeneziyiza kubyo?
weziyiza ebintu bingi nga biyitibwa ebisiibulukusa era byebino biri mwenda:
1-2- okulya no-okunywa nga ogederedde mubungi oba mubutono.
◘ Singa mba sigenderedde nayenga nerabidde nti mazima Nze nsiibye nendya era nennywa?
Ebbanga lyomala nga togenderedde okusiibakwo kubeera kutuufu.
◘ Abaffe kikkirizibwa okunaaba akamwa kange nama zzi bwemmala nempandula amazzi ebweru?
Yye okkirizibwa okukola bwotyo naye singa oba oyagala kwennyogoza amazzi negagenda muddokoo li awo okakasibwako okuliwa ate singa werabira nomira amazzi awo toliwa.
◘ Abaffe nzikirizibwa okubbika oba okunnyika omutwe gwange mumazzi nayenga Nekuuma amazzi obuta genda muddokooli lyange?
Yye, okkirizibwa okukola ekyo newankubadde nga kyetamibwa olwetamibwa oluyitirivu.
3- Okugenderera okulimbisa ALL AH no-omubakawe (S.A.W.) oba ba-imam abakuumibwa (A).
Ate omusajja nomukazi nga buli omu asiibye?
Bakkirizibwa okwegatta mubudde bwa Ramadhani bwokka naye emisana kigaanibwa (HARAM).
Okwejjamu amani nemikonogyo oba mungeri eyekya ma yonna eba – ebaddewo.
Okugenderera okusigala kujanaba okutuusa fajiri lwevaayo, singa omuntu afuna Janaba mungeri yonna naye nga kiro, kimukakatako okunaaba nga fajiri tennaba kuvaayo, asobole okubeera mutukuvu alfajiri weviirayo abeerenga asiiba.
◘ Singa mfuna Janaba ekiro nessisobola kunaaba ku lwobulwadde katugambe?
Otayammama nga fajiri tennaba kuvaayo.
◘ Ate omukya’la?
Omukazi bwatukula okuva mu haizi oba Nifasi ekiro kimukakatako okunaaba fajiri egende oku vaayo nga mutukuvu era asiibe.
◘ Singa neroterera nenvaamu oluzzi olukulukuta nga amani ebiseera byemisana ate nga nsiibye kyokka bwenzukuse okuva mutulo nesanze nga Nnina Janaba?
Okweroterera kwomusiibi tekwonoona kusiibakwe Singa adda engulu musaawa yonna mumasaawa gemisana neyesanga nga afunye Janaba ekyo tekikosa butuufu bwakusiibakwe newankubadde nga tanaabye Janabaye.
Okugenderera okuyingiza enffuufu oba omukka nga bikwafu byombi muddokooli.
Okugenderera okusesema.
◘ Singa omusiibi aba tagenderedde kusesema wabu la nafulumya ebiri mubyendabye awatali kugende rera?
Ekyo tekikosa kusiibakwe.
Okugenderera okweyingizaamu oba okwejjanjabisa amazzi mumpiso oba ebintu byonna ebikulukuta nga amazzi.
◘ Singa omusiibi agenderera okwebagala elimu kubisiibuwkusa ebyogeddwako okusooka?
Akakasibwako okusiiba okusinziira kukuteefuula kuno okujja:
A= Bwasigala nejanaba mubugenderevu okutuusa fajiri lwevaayo asiiba emisana “kirungi okusiibakwe anuyiri re okwesembeza ekitegeeza amalirire okukola ekiragiro ekyolekezeddwa gyali awatali kutongoza nakwawulawo nti nsiiba kulwekiragiro kyokusiiba Ramadhani oba kweyigiriza mpisa.
B- Singa alimbisa ALL AH oba omubakawe oba okufeesa feesa munnyindo omukka oba enfuufu nga mpitirivu asiiba ekisigaddeyo mulunakulwe nga asubira okube ranti okusiiba kwetagisa musharia.
c- Singa asiibulukuka nekimu kubisiibulukusa ebira la asiiba kulwokusuubira nti kyetagisa musharia. Ate Kikakata kuye okwongera kwebyo okuliwa olunakulwe lweyayonona nokusiibulukuka ate alina okuwa omutango oba gwakuta muddu oba kuliisa bamasiikiini nkaaga (60) oba okussiba emyezi ebiri egiddiringana kubuli lunaku lwasiibulukuka sinso nga oba kiri halaali nga amazzi oba kiri haraamu nga okunywa omwenge oba okwejjamu amani nemiko no.
◘ Okuliisa bamasiikiini (60) kujjula kutya?
Oyinza okubaliisa direct olwonno kyetagisa okubakkusa amakulu nti okubaliisa emmere entegekere ddala nga eri mukigero ekibakkusa ate oyinza okubaweereza gyebali olwo nekikakata okubaweereza bisatu byakuna (KG) mukugeragera nya ntende oba ngaano oba omubere oba mukyeere mwebyo ebiyitibwa emmere buli lunaku ate to kkirizibwa kuwaayo maali wabula olina kuwaayo mmere nekigifaanana Sosikirala, oba okusigira omuntu ajikugulire bwamala agitereke yekennyini.
◘ Singa nsiibulukuka olunaku mu-Ramadhani naye nga kulwa kisonyiwisa nga obulwadde obuziyiza okusiiba oba olugendo?
Kikukakatako okuliwa mukiseera ekyo olina okulo nda olunaku munnaku zaasunazo ezitali IDI zombi lwe watambula.
◘ Singa obulwadde bugenda mumaaso buli obwangaana okusiiba mu-Ramadhani eri okutuusa ku-Ramadhani eddako?
-Okuliwa kuba kukuvuddeko, no’kakasibwako omu tango, nagwo nga olina okusaddaaka buli-lunaku bisatu byakuna ¾ KG mummere.
Nayenga sinnaba kusiibula ssomo lyakusiiba taata yagamba njagala okulaza kubino ebijja:-
Tekisaana kusiiba Nnaku zaa- IDI zombi “fitiri ne ADHUHA” mukuliwa nemubirala.
Kikakafu kumwana omukulu okuliwa okusiiba kuli okwasuba omuzaddewe kulwekisonyiyisa mwebyo ebi kakata okubiriwa natabiriwa awamu nokusobolakwe singa omwana omukulu tabeera mugayaavu mukiseera taatawe weyafiira oba okuziyizibwa mukumusikira.
Waayogerwa nti waliwo olukusa olukkiriza okusiibu lukuka mumwezi gwa Ramadhani eri abantu babale bubazi tebakakasiibwako kusiiba Ramadhani mubo:-
Omwami no- omukyaala nga bakadde bombi singa okusiiba kubeeramu obuzibu kubo obanga kubaleetera okukaluubizibwa, awo kibakakatako okuwa omutango buli- lunaku lwebasiibulukuka, ekigero kyomutango bisatu byakuna ebyemmere (KG) mungaano eranga yesingi obulunga naye tebakakasibwako kuliwa kusiiba,
B- Owo’lubuto nga alikumpi okuzaala eranga akosebwa singa asiiba oba okukosa olubutolwe, era akakasi bwako okuliwa oluvannyuma lwokuzaala.
C- omuntu ayonsa nga alina amata matono nga akose bwa nokusiiba oba omwanawe atenga okuyonsa kweya wulidde yyeyekka naye bwekitaba bwekityo takkirizi bwa kusiibulukuka, bwakkirizibwa kimukakatako oku liwa oluvannyuma- ngabwekikakata kubombi ayonsa no’wolubuto okuwa omutanga buli lunaku lweba siibulukuka ¾ KG mukugerageranya.
Nga bwekiri nti esswala mulimu wa’jibu ne’mustahabu no’kusiiba kulimu wajibu ne mustahabbu wabula kiri mumusitahabbu enkakafu, mazima kyayogewa mu-Riwa’ya
Hadiith –“mazima okusiiba ngabo okuva mumuliro” ate “mazima zaka ya-mibiri” era “omuddu kwagenda okuyingirira ejjana” era “mazima okwebaka kwomusiibi lbaada ate okussa kwassa nokusirikakwe tasibiihi, nemirimugye gikkirizibwa no’kusabakwe kwanukulwa” era “omusiini alina okusanyusibwa kwamirundi ebiri okusanyuka nga asaalano’kusanyuka nga asisinkana ALL AH omugulumivu”. HADIITH-enjogera-zakutira kukusiiba okuli musitahabbu.
Okusiiba ennaku ssaata bulimwezi, nekisinga kusiiba lwakuna olusooka mumwezi nolwokuna olusembayo mumwezi, nolwokusatu olusooka mukkumi ezookubiri mumwezi.
Okusiiba olunaku lwamazaalibwa gannabi owekitiibwa nolunaku lwokutumibwakwe.
Okusiiba olunaku lwa Gadiiri.
Okusiiba olunaku olwa (25) mu-zil-ka-ada
Okusiiba olunaku lwa (24) mu-zil-Hijja
Okusiiba omwezi gwa Rajabu gwonna oba ekitundu mu gwo
Okusiiba omwezi gwa SHA-BAN gwonna oba kitundu mugwo.
5- Kunkomerero taata yambuulira Riwa’ya eno nga eva ku ABI-ABDILLAH ASSADIQ (A): “mazima mubujjuvu bwokusiiba kutoola zaka” ekitegeeza zakatil fitiri.
Bweyamala nayongera na’gamba kikakata kubulimukulu alina amagezi alina ekyokulya mumwaka okutoola zakaati al-fitiri kuye kennyini no’yo gwalinako obuyinza, nga alikumpi oba oliwala, mukulu oba muto, newankubadde omugenyiwe bwaba amukyalidde nga obudde tebunnaba kuziba obwa IDI- fitiri oba oluvannyuma lwokuyingira kwobudde (okuziba kwabwo) neyegatta kubantube nabalibwa mwabo balinako obuyinza.
Ekigero kya zakaatil fitiri buli kumuntu (3KGs) mungaano nomubere oba entende oba enzabibu nebirala ebibeera ekyokulya bulijjo oba ekyenkana nakyo mu ssente nga abiwaayo oba abyawulako ekiro kya IDI oba emisana nga swala ya IDI tennaba eri oyo agisa ala no’kutuusa okukyuka kwenjuba eri oyo aba tugisadde
Nga agiwa baavu nebaamasiikiini mwabo abasaanira zaka ya-maali “ tunula mussomo lya zaka”
Manya nti mazima zaaka atali hashimi tesaanira muntu ayitibwa hashimi singa agiwaddeyo si-muhashimi
Ate zaka yafitiri teweebwa eri- oyo akakata kumuntu agitodde okumulabirira nga taata oba maama oba omukya la oba omwana.
Wamu nokwagala kwamanyi okwedda okutannaba kuziba kiwundu kyabwagazi bwakyonokwokerera okulumya kwakoma wo mukusisinkana ekyengera ekyakakano.
Kitange yagenda nga annyumizaako Hijja-ye eya sooka, nga mumaasoge mulimu olutuuyotuuyo lukulukuta, nga nekululimirwe kuliko okwekesa okwekimpoowooze, nga waggulu wakamwaake waliyo okumweenyegeta okulaga okwagala nga kugezaako okweyanjuluza kwennyini, nayenga akuziyiza-nga bwekiri nti: nsonyi nga zakuweesa kitiibwa nakugulumiza okwensusso. Nagamba kitange nga embeeraaye emaze okunnyingira no- okundaga kyaali:- Nkulaba oyogera ku –Hijjayo eyasoo ka nga owomutango bwayogera kukuyambibwakwe okwa sooka.
Yagamba nga neddobooziye emaze okumenyeka era nekkakkana era nga bwambuulira:- nange nziramu naawe katikati olutambi lwokwogera kumboozi eyeeyaza nsaba okuddamu nokwagala okusambbattuka nebbugumu no’kuwoomerera nokuwunyiza empewo eyita nga eweweeza eranga yasigibwa mumwooyo.
Abaffe tewasoma kigambo kya katonda omugulumivu “MUKISEERA WETWAFUULIRA KAABA NGA BWEBUDDIRO BWABA NTU ERA NGA MIREMBE NAKUWONA”
Nekigambo kyakatonda kululimi lwanabbiwe IBRAHIIMU
–“Ay’KATONDA WAFFE MAZIMA NZE NTEESE olulyo lwange mulwazi omutali birime awali enjjuuyo eye mizizo Ay’ katonda waffe babeere nga bayimirizaawo esswala kale fuula emitima gyabantu nga gyaga la era gikyukira gyebali” yeewuuyo nanyini mwoyo gwange nga gwagala omulundi ogwokubiri katikati nga bwegwayagala omulundi ogwasooka eri enju entukuvu eri mulwazi olwereere, ebeerwamu nobuggumivu bwobubaka, ejjudde ekitangaala nakawoowo nokwagala okwokutukuza nniya nobulungi nokwagala
Kitange yagamba bwatyo, oluvannyuma nakoteka olukoteka olwekimpowooze nayimba neddoboozi elyawansi nga akoowoola omwoyogwe:
Owange mwoyo gwange olwaazi lwomwagalwa muhammad omujjuvu gwempewo nokwagala ensi omutali birime wano kyekimuli kya-kaaba nobubaka nekalifuuwa wano, yennuuru, kalenno ojira oggweeramu era osaamuuke.
Owange mwoyo gwange oliwakatiwange ne zamuzamu Nndese amaziga gange gampolerezeewo ebyonoonobyange
Neetolodde kuttaka emirundi musanvu nenjolekeza okwa gala kwange mubirungi ebiringa emmunyeenye zeggulu mukwewunyisa.
Era mukaaba ekimuli mwemuli ekyokwewunda kyomwo yo gwange, emiryango gyeggulu egiringa zaabu gimmazeeko ekiwoobe nekiwuubaalo.
Bweyamala nasitula omutwegwe nambuulilira nga agamba: bwegutyo omwoyo gwange bwegwekwata ku-hijja eyasooka, nabwekityo ebanga erikolebwamu hijja mumwaka wetusisinkanira libadde terinnaggwa kumutima atenga nsinda hijja, era nali nsabye omutonzi waliku-kaaba angabire obulongoofu nobu sobozi obwa hijja eyokubiri neyokusatu neeyokuna katonda agamba mubugulumivubwe mukitabokye ekye kitiibwa “katonda yakakasa kubantu okugenda okula mbuula kaaba erioyo aba alina obusobozi.”
◘ Kkkakafu okukola hijja omulundi gumu oba neyo kubiri neyokusatu neyokuna zonna ziri waajibu- nkakafu?
Nedda okakasibwaako okukola hijja omulundi gumu oluvannyuma lwokusobolakwo.
◘ Nnyumizaako ekyafaayo kya hijjayo eyasooka eri gye wakola?
Oluvannyuma nga mmaze okutuuka “JUHUFAH” kimu kubifo ebyatekebwawo sharia yobusuramu awambalirwa engoye za hiraamu ebifo biyitibwa bwebiti (MAWAAQIITIL- EHRAMU) bwennatuukawo nennuwirira ehiramu ya umura –ttamatue eri hijja nga kyakwesembeza nakyo eri allah, nayambula engoye zange nennyambala engoye za ehiramu nga nazo zeezIno ekkanzu nenkutu byombi nga byeeru, oluvannyuma neenkoowoola nga nsaba omutonzi muluwarabu olutuufu:
“LABBAIKA ALLAHUMMA LABBAIKA,
LABBAIKA LASHARIKALAKA LABBAIKA,
ENNAL HAMUDA WANNI-EMATA LAKA WAL-MULUKU,
LASHARIKALAKA LABBAIKA”
Olwali okugamba nti “LABBAIK” ennyingo zange nezikankana, nafunamu engeri yokutya nokugonda byesetegekera mumwoyo gwange oluberyeberye, muki seera ekyo najjukira ekyali kizuuka ku lmamuwo (AS) mukutya nokumyukirira ebbala nokukankana olulimi mukiseera kyokuleeta talibiya nga kutya ALLAH oweekitiibwa nakwawuka kuye.
Okuva lwennakola oba lwennayingira mu-Ehiramu nenziyizibwa okwegatta nomukyaala buli mungeri yonna, nokukozesa kalifuuwa, nokutunula mundabirwamu mungeri yokwewunda, nokubeera mukisiikirize kulwenku ba nomusana, nokwanbala ebitunge nebibifaanana ne ssookisi, nokubikka omutwe nebirala ebyalagirwa mu bitabo bya fiquhu.
◘ Oluvannyuma lwokukola ehirami.
Oluvannyuma lwokuyingira mu-ehirami nayolekera macca eyekitiibwa nga nettukuzza, mbeere nga neeto loola kaaba emirundi musanvu nga gitandiikira kajji nja eriddugavu eranga kwejikoma, era nsaale elaaka bbiri nga ezaasubuhi oluvannyuma lwokwetooloola emabega wekifo kya IBURAHIIMU (AS) nga nesembeza nemirimu gyange gyonna-UMURA ne Hijja-eri katonda omugulumivu.
Oluvannyuma nenjolekera okugenda okusonnyonta wakati wassafa ne maruwa emirundi musanvu nga ntandikira saffa okutuuka maruwa.
Bwenajjuza omulundi ogwomusanvu mukifo maruwa nakendeeza kunviiri zomutweegwange.
Mubufunze nakendeeza kumviiri nenzijuza umura ya hijja, nenva mu ehirami zange nnindirira olunaku olwomunaana lutuuke mumwezi gwazil Hijja olunaku lwa “TARIWIYYA” nga lwa kuddamu Hirami okutandiikira mumacca mwennyini omulundi omulala, naye ehirami e’yo ebeera ya hijja kumulundi ogwo siya umura.
Olunaku lwomunaana bwerwatuuka nennyambala enkutu yange nekkanzu yange omulundi ogwokubiri, nendeeta Nniya ya ehirami ya hijja, nennkowoola “LABBAIKA” oluvannyuma nenjolekera mu-Arafaati nemmotoka embikkule yaako kubanga kinkakatako okuyimirira e’yo era mbeereyo, okutandika muntadikwa ya zuhuri muttuntu lyolunaku olwomwenda mumwezi gwa zuli hijja okutuusa enjuba lwegwa.
Enjuba bwemala okugwa olunaku olwomwenda nga nange ndimu –arafaati nayolekera eemuzidalifa nensulayo ekiro kyekkumi mu zil-hijja, kubanga kinkakatako –fajiri- mambya yolunaku olwekkumi eveeyo nga nange ndimumu- ZIDALIFA era nsigalemu okutuusa nga omusana gunaatera okuvaayo.
Enjuba bweyavaayo olunaku olwekkumi nga nange ndimumuzidalifa, nava emuzidalifa nengenda “emina” nga Nnina obuyinja bwennalonze emuzidalifa, kubanga ebintu bisatu binnindiridde emina olunaku olwo kiri kunze okubituukiriza eranga byebino:
Okukasuka JAMURATI AQABA nobuyinja nobuyinja musanvu kamu ku kamu.
Okusala “HADIYI” emna.
Okusala enviiri emina “okumwa enviiri emina”
Bwenbimala nensala enviiri nenfuuka wahalaali okujjako okweyagala nebakyala nekali fuuwa, nokuyigga, ebyo nga sibikola olwo nengenda emakka omulundi ogwokubiri netolole olwetoloola lwa Hajji era nsaale swala ya Tawafu, nsonnyonte wakati wassafa nemaruuwa, nga bwennetoolodde nensaala nensonnyonta olwasoose okutuuka mumakka.
Bwennabijjuza nennetooloola “Tawafu NNISAA” nensaala swala ya tawaafu, ate nenkomawo emina kuba kinkakata ko okusulayo olunaku lwekkumi nolumu nolwekkmi nebbiri nsigale emina okutuusa oluvannyuma lwadhuhuri olunaku lwekkumi Nakasuka mubbanga eryo obuyinja obusatu akasooka nakomumakkati ne AQaba kamu kukamu mulunaku lwekkumi nolumu oluvannyuma nenkomawo nenkasuka ogwokubiri mulunaku lwekkumi nebbiri nga bwennakasuka okusooka.
Ettuntu lyolunaku lwekkumi nebbiri bweryatuuka neriyitamu, nga nange ndimumina, nensaala dhuhuri oluva nnyuma nenva emina nga mmalirizza emikolo gyahijja gyonna.
Okusinziira kukunyigagana okwamaanyi nenjuba nga ebuubuuka nomusenyu nga gwokya, awamu nokubanti nze nanyinkiira mwennyini- nga bwekiri – nga njagala kukakasa mubujjuvu nti mazima nze nyimiri dde my- Ara – faati sosiibweru waayo awamu neekyo mazima hijja neebeera mukolo gwamugaso kulwokusembera ewa katonda nokumwekwatako nokuyimirira mumaasoge nokuwoomerwa nokumwegayirira emisana nekiro.
Oluvannyuma lwekyo nava mumakka eyekitiibwa nga nze zenna ndimukujeegomba, nakusaalirwa okuyise era nga kulwaza kulwokwawukana nayo- nengenda emadiina munawwara gyennafunira ekitiibwa kyokula mbuula entaana ya nabbi oweekitiibwa muhammadi (s.a.w.) nentaana ya swiddiqatu ttwahira FATUMA ZAHARA (A) nentaana zaba imamu (A.S.) “imamu HASAN (A) imamu ALI bun HUSEINI (A) imamu muhammadi al – baagiri (A) ne imamu Jaafari ssaadiqi (A)”
Oluvannyuma okulambuula emizigiti nebifo ebyebitii bwa ebiri emadiina munawwara nokulambuula Hamuza taata wannabbi omuto (S.A.W.).
Ebyo mubufunze yemboozi ekwata ku hijja yange eyasooka njikubuulidde kati mubufunze, ekiseera wofunira ezisobola okukola hijja oluvannyuma lwokuzitukuza nga ojjemu zaka ne khumusu singa ziba zituuse okujjamu khumusu oba zaka, olwo nzija kukwanjulukiza mubujjuvu buli kikolwa kyokola nga otuuseeyo.
Katonda akusobozese okulambuula enjuuye eye mizizo, era ogasibwe nga otuuseeyo mazima yye alikumpi era mwangu wakwanukula.
◘ Nga tonnamaliriza kwogera kwaffe kuno owange taata njagala okukubuuza “kukutukuza maali” zaka yaayo ne khumusu waayo biri byewayogeddeko mumbooziyo.
Sikati- kati, emboozi ekwata kuzzaka ne khumusu mpanvu tujja kuteekulula bulikimu namulyango gukyeyawulidde katonda bwanaaba ayagadde.
◘ Ojja kunnyumikiza kuzzaka bwekiba bwekityo, mu kwogera kwaffe okujja, oluvannyuma oyogere kukhumusu.
- Nga bwayagala inshaallahu- taala.
◘ lnshaallah.
Zakaat mpaji mumpaji ettaano ezaazimbirwako obusiraamu –kitange yagamba nayo yamubintu ebika kafu muddiini, nekulwemigaso gya’yo eminene, mazima kyayogerwa mu-hadiith eyekitiibwa: “mazima esswala tekkirizibwa mwooyo aziyiza zzaka”
Kitange yayogera ekyo nayogera nagamba: bweya mala okukka a’ya eno ekwaata kuzaka Bisimillahi arrahmaani arrahiimi “JIA MUMMAALI YAABWE SADDAAKA OBATUKUZE ERA OBAYONJE NAYO” omubaka wa katonda yalagira omukoowoozeewe nakoowoola mubantu: “mazima katonda omugulumivu abalaaliseeko zaka nga bweyabalaalikako sswala” Bwewaayitawo omwaaka omubaka (S.A.W.) na’lagira omuko owoozeewe nakoowoola mubasiraamu: “Abangemmwe abasiraamu muwe zaka mumaali yammwe swala zammwe zijja kukkirizibwa” oluvannyuma omubaka (S.A.W.) na’lagira abakungaanya bazzaka bajijje kubantu.
Kitange yagamba: omubaka wakatonda yali alyaawo mumuzigiti na’gamba: “yimirira owange ggwe gundi, gundi yimirira, gundi yimirira, gundi yimirira” okutuusa lweyafulumya abantu bataano, na’gamba: “muve mumuzigiti gwaffe, temugusaaliramu nga ate temuwa zaka”.
Kitange yayongerako na’gamba yekapye mumaaso ajjudde ennaku nga anzijululira hadiith okuva ku-imamu ABI-JAAFARI (A) mwajjiramu: “mazima katonda owekitii bwa agenda kuzuukiza abantu kulunaku lwenko merero okuva muntaana zaabwe, nga basibiddwa emikono gyabwe munsingo zaabwe, nga tebasobola kwejjako najo mpingu, ngabalina malaika ezibatwa la olutwaaza olwamaanyi, nga malaika zigamba nti: a’bo bebaagaana ekirungi ekitono okuvaamu ebiungi ebingi, a’bo katonda beyagabira nebamma ngabaziyiza omugabo gwa katonda mummaali zaabwe”
Nemweebyo byennekeeneenya nga nsoma ekitabo Qru’an entukuvu bingi ebisembeza zzaka kusswala mu-a’ya zaqur’an eyekitiibwa ga Sharia mubusiramu.
◘ Bwennabuuza kitange kunsonga yokuteekawo zaka yannyanukula nahadiith ya imaamu swadiq (A) mweyagambira bwati: “mazima zaka yateekebwawo kugezesa bagagga, nakuyamba baavu, era singa abantu batoola zakamubu gagga bwaabwe tewalisigaddewo musiramu mwaavu era nga mwetaavu- era yaligaggawadde neekyo katonda kyeyamukakasaako ate mazima abantu tebaalyavuwa dde, era tebaalyetaaze yadde okulumwa enjala, era tebaaliyise bwerere okujjako nabibonerezo byabagagga, era kikakafu kukatonda okuziyiza okusaasirakwe kwoyo aziyiza omugabo gwa katonda... mubugagaabwe”.
Era nemmubuuza...Buli maali ekakatamu zaka? Yagamba nga ayanukula: zaka ekakata mubino ebijja.-
1-: mu-zaabu nemu-feeza (nabulombolombo)
2-: Engaano nomubere nentende nenzabibu (nabulombolombo)
3- mungamiya nemunte nembogo ne mbuzi nendiga.
Nabulombolombo afebulala.
4-: mummaali eyokusuubula (era nabulombolombo).
◘ Bwebuliwa obulombolombo obusaana okubeerawo mu zaka yazaabu nefeeza buli bwewagambyeeko mu kwogerakwo?
OBULOMBOLOMBO BUNGI:
zaabu alina okuwera ekigero kyobuzito 25 nga awedde okulongoosebwa omwo zaka yaamu (2/5 ./.) nabuli lwekwe yongerako obuzito bwamirundi esatu kikakata okujjamu (2/5./.) ate bwekweyongerako ekigero kyobuzito (21) kikakata okujjamu (2/5 ./.) zaka.
◘ Singa zaabu nefeeza bikendeerako kukigero ekyogeddwa?
Temukakatamu zaka.
Birina okuyitako emyeezi kumi nagumu nebiyingira mumwezi gwekkumi neebiri nga bikyali nenannyinibyo.
Zaabu neefeeza birina okubeera nga bimaze okulongoo sebwa nga bifuuse ekintu ekigulibwa era nekitundibwa.
◘ Ate ebyambalo nebintu ebirala ebikolebwa muzaabu nemufeeza nebitundu byafeeza nezaabu ebirala?
Tebikakatamu zaka.
Nannyinibyo alina okubeera nti asobola okubikozesa mumwaaka omulamba, zaka tekakata mummaali eyabula okumala ebbanga erimanyikiddwa mubantu.
Nannyini maali alina okuba namagezi amajjuvu ate nga mukulu mumyaka zaka takakata mummaali yamulalu oba omwa’na omuto.
EKYOKUBIRI: MUBIKAKATAMU ZAKA:
ENGANO OMUBERE ENTENDE ENZABIBU
Ebintu ebyo bikakatamu zaka nga bulikimu kiwezezza ekigero kya (847) kgs. Oluvannyuma lwokukala.
Ekigero kyazaka ekijjibwamuenkakafu mubyo kyekino:
1-Singa binywesebwa namazzi genkuba oba amazzi gomugga obaebibifananako nga tekyetaagisa maanyi mangi mukukinywesa birimu zaka yamuebeera (10./.).
2- Singa binywesebwa namukono oba nabikozesebwa okugeza nga ebbumba oba ekiri nga e’byo zaka ejjibwamu (5./.).
3-Singa binywesebwa nankuba ate nebinywesebwa ne mikono omulundi omulala oba nebbumba zaka ejjibwamu (7/5 ./.), okujjako nga ekimu kubyanyweesa ebibiri kya kozesebwako katononnyo nga tekibalibwa mukiseera ekyo tukyesigamiza eri ekyakola ennyo.
◘ Singa ekifuniseewo kiba tekiwera buzito bwa bikopo bikumi bisati (300) oluvannyuma lwokukala kwabyo?
Singa ekigero ekyasalibwawo kikendeerako awo zaka tejjibwamu.
◘ Abaffe waliwo obulombolombo obulala?
Yye... ekyo ekifuniddwa kirina okubeera nga kyanannyini kyo mukiseera zaka wekakatira mukyo singa akifuna oluva nnyuma lwekiseera ekyo tekimukakatako kukijjamu zaka
◘ Ddi zaka lwekakata kubintu ebifuniddwa ebina?
-Ekakata kubyo mukiseera erinnya werikakatira:
enngaano oba omubere oba entende oba enzabibu.
Ekyokusatu mubikakatamu zaka:-
Embuzi endiga, engamiya, ente embogo.
Waliwo obulombolombo mukuwa zaka yebintu ebyo:
Omuwendo gwabyo gulina okuwera omuteeko era nga namba yeyawudde Singa ewera zaka ebeera nkakafa mubyo.
Singa engamiya ziwera ttaano (5) zaka tujjamu embuzi e’mu, (1) mungamiya kkumi tujjamu embuzi bbiri (2) mungamiya kumi nattaano tujjamu embuzi ssatu (3), bweziwera makumi a’biri tujjamu embuzi nnya (4), bweziwera makumiabiri muttaano, tujjamu embuzi ttaano (5).
Mungamiya abiri mumukaaga tujjamu engamiya enkazi nga erina emyaka ebiri mubukulu bwayo.
Mungamiya 36 tujjamu engamiya enkazi eyemyaka 3 mu bukulu bwayo.
Mungamiya ezisigaddeyo nazo mulimu omuwendo gwezitu kamu netugenda nga tujjamu zaka naye wano ekifo tekinganya kubyo gera byonna.
Embuzi bweziwera makumi a’na (40) tujjamu zaka ya kabuzi kamu ate bweziwera embuzi (121) tujjamu embuzi bbiri (2) ate bweziwera embuzi (201) tujjamu embuzi ssatu (3) ate bweziwera embuzi (301) tujjamu embuzi nnya (4) ate bweziwera embuzi (400) oba okusingawo kati tuba tubala bulimbuzi (100) tujjamu embuzi emu (1) wonna omuwendo weguba gwenkana.
Bweziwera ente makumi asatu (30) tujjamu zaka yaseddume engoberezi nga eyingidde mumwaka ogwo kubiri, bweziwera ente (40) tujjamu enkuula mannyo nga eyingidde mumwaka ogwokusatu mubukulu bwayo munte nemumbogo.
Tewali kuwa zaka mwezo eziri wakati wa (40--- 30) emiteeko gyombi oba namba eyimirundi ebiri eweereddwa mungamiya ne nte nembuzi, Singa omuwendo gweyongera kumuteeko temuba zaka oku tuusa kumuteeko omupya.
Ebisolo birina okubeera nga birunlibwa mu nsiya katonda naya bwebiba nga birisibwa muddo nga nannyinibyo abiwa muddo newankubadde mukitundu kyamwaka temu beeramu zaka.
[Sikikulu mubisolo obutabeera bikozi, mukakatamu zaka newankubadde byakozesebwako mukunywesa oba okujjulu la ebintu oba ekiringa ebyo mubbanga erimanyikiddwa].
Nannyinibyo oba mukama wanannyinibyo alina okubanga asobola okubikozesa mumwaaka gwonna, Singa bibbibwa mubbanga erimanyikiddwa tebikakatamu zaka.
Birina okuyitako emyezi kumi nagumu, nebiyingira mu gwekkumi nebiri nga biri mubuyinza bwabanannyinibyo.
Ekyokuna mubikakatamu zaka: MAALI yo kusuubula: yeeyo emmaali omuntu gyabeera nayo nakigendererwa kyakuwanyisaganya nga agendereramu magoba nakusuubula ne zaka yamu (2/5 ./.) Singa obulombolombo buno buku ngaana:
Obukulu bwannanyini namagezige.
Emmaali erina okuwera omuteeko nga gwemuteeko gwebi mu kubiweebwayo mubuliwo feeza nezzaabu, oyinza okuddayo mumuteeko gwabyo.
Birina okuyitako omwaka mubwennyini bwabyo mukisee ra weyafunira ekigendererwa kyamagoba nokusuubula.
Okusigalawo ekigendererwa kyamagoba omwakagwonna Singa akyusaamu kunniya nayagala okubikozesa mukulya wakati mumwaaka, temukakatamu zaka.
Nannyini okubanga alina obusobozi bwokukozesa oku mala omwaka gwonna.
Okunoonya capito oba okwongerako mumwaka gwonna.
◘ Singa ntoola zaka ngiwaani agisaanira?
- Zaka eweebwa abagisaaniraera nga balimu emitee ko munaana nobulombolombo katonda omugulumivu yagamba: “MAZIMA SADDAAKA YABAAVU NE BAMASIIKINI NA BAGIKO LAKO NABAYINGIRA MUDDIINI NGABAABITIIBWA KULWOKUBEESEZAAWO emyoyo gyabwe nabali mubuddu nabamabanja nemukubo lyaka tonda nomutambuze nga kyalaalikibwa kuva wakatonda era katonda mumanyi era mulamuzi”.
◘ Njawuloki eri wakati womwavu ne masikiini?
Omwavu ne masikiini: bombi yoyo atalina kyakulya kyakola oba omulimu katugeze ogwo gwayinza okwe yambisa mukufuna ekyokulya ye nabantube, ate yye masiikiini yasinga okubeera mumbeera embi okusingako omwavu.
◘ Beebaani abagikolako?
Abagikolako: beebasimbibwaawo nennabbi (S.A.W.) oba imamu (A) oba omulamuzi washariya oba asisitantiwe abeerenga asoloza zaka nokugibala nokugituusa gyebali oba abagisaanira.
◘ Ate abokubeesezaawo emyoyo gyabwe?
Mu- Allafati Quluubuhumu: bebasiramu a’bo abaweesa obusira mu bwabwe ekitiibwa nakubawa ssente’ oba abakaafiiri kulwekigendererwa kyokuboaleeta mubusiramu, oba okubaya mba abasiramu mukudifenndinga kubo bennyini.
Kirungi okulaza nti: mazima tewali bufuzi nadowoza ya imamu (A) ne asisitantiwe.
◘ Ate abaddu?
Abaddu beebo abagulibwa nebateebwa.
◘ Ate abamabanja?
Abamabanja beebo ababanjibwa nga baalemwa okusa sula amabanja gaabwe musharia.
◘ Ate abati mukkubo lya katonda?
Abali mukkubo lyakatonda kwekusansaanya mumakubo gobulungi agabuna nga okuzimba emizigiti nentindo nebirala [naye mukukozesa omugabo guno mwetagisaamuolukusa lwa imamu (A) oba omulamuzi washaria]
◘ Ate omwana wekkubo?
Omwana wekkubo: yoyo omutambuze akutuseeko, oyo senteze gweziweddeko nga talina bwangu bwakwewo labbanja asobole okuddayo obanga okwewola kumu kalubiriza nga bwekitamwanguwira kutunda ebimu kubyo bugaggabwe ebiri munsiiye oba okupangisa asobole okuddayo munsiiyo, mazima aweebwa ezimuzzaayo naye nakalombolombo olugendo obutabeera lwabujeemu.
Egyo gyemiteeko gyabasaanira zaka, wabula waliwo akalombolombo eri oyo gwowa zaka alina okubeera mukkiriza era nga Simulesi wasswala era nga tanywa mwenge oba okweyolesa nebyetamibwa era alina okuba nga tasansaanya zaka mubyabujeemu, era alina oku beera nga okumuwa zaka sikumuyamba kukyonoono nakukola kibi newankubadde nga tazisansaanya mu byabujeemu.
Nakalombolombo akalala kwekubani talimwabo abaliisibwa nenannyini kuwa zaka nga mukaziwe, era alina okuba nti asaanira simuhashimiyya, ate kisaanira eri omuhashimiyyi yekka okuwaayo zaka eri omuha shimi nga yye.
Kitange yayingira muddiiro wetugenda okwogerera nga alina omusuhafu mungaloze, era nga mukyenyikye alinamu okutiisa okwobujeemu, olwali okutuula bwati nanjolekera yakutamirawo kumusuhafugwe ogwekitiibwa nagunywegera bweyamala n’agisitula nemikonogye gyombi kulwokugigulumiza nagimpa.
Bwennagifuna okuva kuye nengikwata nemikonogyange nenginywegera, nasanyuka mumubirigwange, nekumbugana okutya okweki tiibwa bweyateera Qur, an mungalo zange kitange nagamba:
- Wumbulula ekitabo kya katonda onsomereko ekitundu muntandikwa ye Jjuzu yekkumi mu Qur, an.
◘ Nawumbulula ekitabo ekitabo ekyekitiibwa nentuuka kujuzu eyekkumi nensoma-oluvannyuma lwa Auzu billah mina sshaitani rajiimi, -ekigambo kyakatonda ekigamba:
[MUMANYE NTI MAZIMA OMUNYAGO GWONNA GWEMUBA MU FUNYE MUKINTU MAZIMA KATONDA ALINAKO KHUMUSUYE- OMUGABO GWE- NOMUBAKAWE NABEKIKA NEBAMULEKWA NEBAMASIIKIINI NOMUTAMBUZE BWEMUBEERANGA MWAKKIRIZA KATONDA NE BYETWASSA KUMUDDUWAFFE OLUNAKU lwa Badri OLUNA ku LWOKUSISINKANA ebibina ebibiri NEKATONDA MUYINZA KUBULI KINTU KYONNA]
Kitange yankutuza nagamba:
- Nziriraamu mpulire byosomye.
◘ Nenziramu okusoma ekigambo kyakatonda ekigamba:
“MUMANYE MAZIMA KYEMUFUNYE MUMINYAGO MUKINTU KYONNA MAZIMA ALLAH ALINAKO OMUGABO (KHUMUSU) NOMUBAKAWE NABEKIKA NEBAMULEKWA NEBAMASIKIINI NOMWANA WEKKUBO” yagambanti kimala...komaawo...bweyamala nakutamya omutwe katono nabeera nga eyenyumikiza yekennyini “MUMANYE NTI MAZIMA KYEMUFUNYE MUMINYAGO BULIMUKI NTU KATONDA ALINAKO OMUGABOGWE (KHUMUSU)”
Naasitula omutwegwe gyendi nagamba nga addamu mpola mpola:
Katonda agamba: “MUMANYE” abaffe wategeerako okulaalikibwa kwa KHUMUSU?
◘ Nagamba-nga mbunidde amayengo gobutebenkevu obwamazima nokutya:-yye-yye...nkimanyi.
Oluvannyuma yasituka okuva mukifo watudde nankwasa omujallada omulundi ogwokubiri ogwamuli okumpi nga aguyita “WASAAELI” nensoma kungulu kwolupapula lwagwo olusooka erinnya lyomutunziwagwo “muhammadi bini Al-Hasani al- hurri al – Amili” nangamba: nzijiraamu ekitabo kya khumusu osome.
◘ Nenzijayo ekitabo kya khumusu nemusomera hadiith okuva kunnabi (S.A.W.) ne ku imamu Ali (A) ne imam ASWADIQ (A) ne imam KAZIMI (A) mukhumusu.
Nemwezo zennamusomera MWALIMU hadiith e’no nga eyogerwa nomusajja ayitibwa Emurani bin musa yagamba nasomerako musa bini Jaafari (A) etteeka Lya khumusu nagamba: “Ekibeera ekya katonda ekyo kiba kyamubakawe ate ekibeera ekyomubaka ekyo kiba kyaffe”
Oluvannyuma yagamba: “Ndayidde katonda mazima katonda yayangyiriza kubakkiriza RIZIQ yaabwe nedirihamu ttaano baafuula e’mu kuzo nebagiwa katonda waabwe nebalya ennya nga ziri halaali”.
Ate hadiith eyayogerwa nomusajja ayitibwa SUMA-A yagamba: nabuuza Aba-l-Hasani (A) kubikwata kukhumusu, nagamba: “Buli mwekyo ekigasa abantu muki tono nemu kinene- ekingi”.
Neeno Hadiith Eyayogerwa okuva ku muhammadi bini al- hasani al-ashi-ariyyi yagamba: abamu kubamasuhaba baffe bawandiika eri abi-Ja-afari-thaani (A):
Mbuulira kukhumusu eri mweebyo byonna omusajja byeyegasa nabyo mukingi nekitono, nemumiteeko gyonna nemubikolebwa? kiri kitya ekyo? Naawaandiika nomukono gwe: “khumusu luvannyuma lwakyakulya”.
Nali nakamala okusoma hadiith e’zo nembuuza kitange
◘ Mukwogera kusswala wangambye: tosaalira mulugoye olukakatamu khumusu nga tonnaba kutoola khumusu waalwo oba zaka yaalwo-singa bikungaana byombi –nga tonnaba kukola Hijja , abaffe kinkakatako ntoole khumusu emmaaliyange yonna kiri kitya ekyo?
Kitange yagamba : khumusu ekakata mubino ebbijja :
Ekyo ekinyagiddwa nabasiramu mulutalo mubyobu – gagga ebijjulukuka, nebirala nga bibadde byabakaafiiri abasaana okuttibwa.
Ebijjibwa mubirombe nga zaabu ne Feeza nennuhasi nekyuma nekibiriiti nebirala, nabwekityo amafuta petrooli namanda gamayinja, oluvannyuma lwokujjako ebikola kukubijjayo nokubirongoosa, kalombolombo okubeera nti bituuka kubeeyi eyakatale nga bimaze ekigiro ekijjiddwamu nga kyenkana misiqaala (15) mu zaabu omulongoose omusengeejje oba okweyongeraka.
Amawanika agomuttaka, kalombolombo okuwera ekigero ekijjiddwamu (15) mithiqaala zaabu omusenge jje oba okusingawo, ate feeza alina kuwera (105) mathaaqiili oba okusingawo oluvannyuma lwokujja ezikoze kukubirongoosa.
Ebijjibwa munnyanja nokwebbika muyo oba mumigga eminene egyo egibeeramu luulu ne marijaani nebirala singa biwera valyo yalyo Diinara ya zaabu.
Emmaali ya halaali nga yetabudde ne haraamu mubimu kubifananyi byayo.
Amagoba agabuli mwaka nga gafunibwa mukusuu bula oba kukola oba kutona okubeerawo nga mwemuli omusaala gwomulimu nebirala...
Namukutuza mubigambobye:
◘ Kitegeezaki nti mazima amagoba gokusuubula ojjamu khumusu?
Simagoba gakusubula gokka nti gegakakata okujja mu mwemuli Nze naawe.
◘ Omusuubuzi abala atya amagobage nga ate kuliko okujjamu khumusu?
Abala mmaali gyalina mubyokutunda nessente zaalinawo mubuliwo zennyini oluvannyuma lwokuyitawo omwaka okuva mukutandiikakwe mukusubula najjululamu:
Kapito yammaliye gyasuubula nayo.
Essente zasansaanya mukufuna amagoba nga tulansi pooti amasanyalaze essimu ezasitoowa newasula nebirala.
Zakozesa yekennyini nekubantube okumala omwaka mulamba, ekitegeeza zakozesa mukulya nemukunywa okwambala nokusula, okutambula nebiwempe ebyo kwalirira munju, nokwejjanjaba nebirala, nga mwemuli okusasula amabanja nokutona ebirabo, nebimukakata ko nengeendo nemikolo nebirara ebyobutonde ngayye
Eranga tukubalibwa nga kudiibuuda nakwonoona bwamala okujjululamu ebintu ebyogeddwa, ajjamu 20./. mubisigaddewo nawaayo khumusu.
◘ Yanyanjulukiza bwatyo nakuleeta kyakulabirako.
- Okugeza nga: singa olaba omusuubuzi mukuweza omwa ka nga asubula aba alinawo omutwaalo gwa diinari mubuliwo ate nabeera nemitwaloze awamu aba alina emitwalo esatu, kati laba kapito yali yadiinari nkumi ttano, nasansaanyako nga asuubula tulansipooti essimu amasannyalaze, edduuka nebirala byamalawo diinari 1000, nasansaanya yekennyini nefamileye mumwaaka omulamba diinari 4000, kati amagoba oluvannyuma lwokujjako kapito nebikozesebwa mukusuubula noku lya omwaka omulamba amagoba gabeera diinari mutwalo mulamba amakulu nti: 30000-20000=10000 ezo zezikakata okujjamu khumusu, nekigero kya khumusu ziba diinari lukumi: 10000-5= 2000 ezo zessente zalina okuwa enkakafu
◘ Nnakuki zentandikirako okubala amagoba nsobole okumanya nti omwaka guyiseeko kati nkakasibwako okuwa khumusu?
Otandikira mukulabika kwamagoba singa tobeera namulimu kwowangaalira kati okuva lwewatandiika okugasibwa newayitawo omwaka nga toziteese mukulya oba kwambala oba kujjanjaba oba kugula byanju oba kutambula... oba ...oba ... Jamu khumusu kukyofunye, naye bwobeera nomulimu gwowangaaliraka mubulamubwo, awo tandikirawo okuba ennaku okuva lwewatandiika okupakasa nokusuubula.
◘ Singa ngula engoye nga zange neziyitako omwaka nga sizambadde?
Zijjeemu khumusu waazo nabwekityo omukulu famile awa khumusu –nabuli nannyini –mubintu byaguze mumwaka ebyomunju kyokka natabikozesa, nga mubyo mwemuli ebisigala munjuuye nga omucheere oba engano oba obuwunga oba omubere oba sukaali oba amajaani oba kasooli oba empindi oba amafuta oba Gaasi nebirala.
◘ Ekitegeeza nti buli ekyeyongera kukyetaago nata kikozesa oba kiriibwa oba kyambalwa... aba alina okujjamu khumusu?
Yye... bwelutuuka olunaku lwokuwa kubyetaago ebyomwaka nobiweera khumusu waabyo okuvamubyo oba ogerageranya valyo yaabyo gyewabigulirako.
◘ Nngerageranya beeyi yaabyo olunaku olwokubala khumusu oba beeyi yaabyo mukiseera kyokugula?
Obala beeyi yaabyo erikukatale olunaku lwokuwa khumusu, sosi beeyi gyewagulirako.
◘ Singa mba siwadde khumusu ya kye taago ekyali kinkakatako okukijjamu khumusu?
Oba tokkirizibwa kukikozesa okutuusa lwojjamu khumusu, naye kikkirizibwa nolukusa lwomulamuzi wa sharia singa alaba nga mulimu amasulaha –(omugaso).
◘ Omuntu afudde nga tannaba kuwa khumusu ate natalaamira kujjamu khumusu kati omulimu gwa abasika gweguliwa?
kibakakatako okutoola khumusu mwebyo byennyini byeyasikiza mukusooka kuddaame no’busika, mwebyo tujjululamu Singa omufu yali mujeemu tawa khumusu mazima kimukakatako omusika nga mukkiriza okutwaala ebintu byomufu naye takakasibwako kumala bbanja lyamufu mwebyo ebikakatamu khumusu.
Nabwekityo mubuli kintu kyonna ekizzibwa eri omukkiriza okuva eri oyo atawa khumusu mumma liye mukukolagana oba bwerere, mazima agitwala ate nakkirizibwa okujikozesa, nga bwalina oluku sa okukozesa maali yooyo atawa khumusu singa agimuwaamu olukusa awatali kufuula yiye mwebyo byonna omukkiriza tabeera nakibi wabula kibeera kwoyo eyaziyiza okutoola khumusu.
Bwatyo bweyagamba kitange bweyamala nasirika okumala akaseera Aze nemmwanguwira nemmubuuza:
◘ Omusubuzi akalaki oba nannyini ttaka eryokulimirako oba nannyini factory oba omukozi oba muyizi oba abatali a’bo singa tawa khumusu era nga teyebala yekennyini kutoola khumusu mwaka namwaka yenya gira mugyo nagasibwa nafuna amagoba gessente nazi mba amayumba nagula ebintu byenju nekapeti ne ngoye, oluvannyuma najjukira okutoola khumusu mu magoba a’go?
Kimukakatako okutoola khumusu mumagoba a’go okuva mubuli kyoyogedde no’bala Singa tekibeera mubyakulya ebyomwakagwe, wabula nga bifisse bya kubyetagobye ebyomwaka.
◘ Mpaayo kukyokulabirako?
Enju gyeyagula natagifuula makaage, kubanga alina enju endala etali e’yo kimukakatako okujiweera khumusu nebiwempe byeyagula natabikozesa kulwobuteetaaga kubikozesa nabyo abijjamu khumusu waabyo.
Ne byetaago byeyagula kyokka nga talina haaja kubyo oyo alikuddaalalye kimukakatako okubijjamu khumusu.
◘ Ate ekibadde mubikozesebwabye mumwaka okugeza nga enju gyeyagula okubeeramu oba ebintu byeya gula nabikozesa kulwobwetaavubwe gyebiri n’ebiri nga ebyo.
Singa abanga yagula enju oba ebintu okuva muma goba gomwaka gwennyini gweyabeera munju e’yo mukozesa ebintu takakasibwaka kujjamu khumusu, nebirala bwebitwo.
◘ Bwabeera nga yagula enju mumagoba agamwee kungaanizaako mumyaka egyayita okwongera kumagoba gomwakaguno gweyabeera munju-nga abantu abasinga obunji bwebakola omwaka guno-nga bwendowooza mwabo abakunga nya amagoba negeetabula namapya kibakakatako okubala khumusu?
Kikakatakuye okugenda eri omulamuzi washaria oba asisitantiwe balongoose naye ebintu ebirimu okubuusabuusa nti bya mumagoba agayita oba muma goba amapya agomwaka gweyabeera munju, naye ekyo ekimanyika nti kyamumyaka egyayita alina oku kijjamu khumusu mangunnyo.
◘ Singa tasobodde kuwa khumusu mulundi gumu obanga mulimu obuzibu?
Omulamuzi washaria oba asisitantiwe amuyambako okugabanyamu oluvannyuma lwokubizza mubuyinzabwe abeerenga awampolampola.
◘ Nze kakati nsula naawe munju emu, abaffe kinkakatako okuwa khumusu oba kimala khumusu owuwo ggwekennyini?
Yye kikukakatako okuwa khumusu mumagobaago newankubadde nga olinange munju emu Singa ofunye amogoba negasigala gyoli omwaka mulamba nga togakozesezzaako kubanga tolina kyetaago.
◘ Singa ntawaana mukiwummulo ekyomusana ekyeeya.
Nga ndimuyizi- kumusaalagwomwezi gwe kitange notazinjijaako mbeerenga nzikozesa nze mwennyini mubyambalo, abaffe kikakafu kunze okuwa khumusu mubusente bwange obwomwezi?
Bwozikozesa mubikusaanira towaamu khumusu, ate bwozitereka oba ekituntu muzo neziyitako omwaka okakasibwako okuwa khumusu muzewatere ka.
◘ Ekifo kyokusuubula nannyinikyo yakigula namusingo ekifo nebikozesebwa najjamu khumusu mumwaka ogusooka abaffe kimukakatako okuwa khumusu nga ayongera kuzeeyongera kumusingo nebikozese bwa buli mwaka?
- Nedda –wabula kimukakatako okuwa khumusu mweebyo ebyoyongerako oluvannyu lwokutunda ekifo nokulabbika amagoba mukyo bwabanga taga kozesezza mumwakagwe.
◘ Ebyombo byokuliiram no’kunyweeramu Singa bikozesebwa nga ebyokwewunda, abaffe okukozesa okwo kubalibwa nga kukozesa okujjawo khumusu?
Singa okubaawo kwabyo kumanyikiddwa eri abalala nga yye mubantu era nga obutabeerawo bubabuke ndeevu mukiseera ekyo mubikozesebwa byomwakagwe era tawa khumusumubyo
◘ Omuwendo oba ekigero kyessente nannyinizo yazijjamu khumusu oluvannyuma nazikyuusa nazza mukika kye sente endala kyokka valyo yaazo nenafuwa okuge rageranya nessente ezaasooka nasalawo okuzitereka neziyitako omwaka.
Tekimukakatako kutoola khumusu mubeeyi eyeyonge rako ebbanga nannyinizo lyamala nga alina ekige ngererwa kyokutereka maali mubuliwo.
◘ Ebimu kubyokulya biteekebwawo nagavumenti nebitundi bwa kubeyi eyawansi okugerageranya nebeyi erikukakatale Singa nannyini byo aba tafunyemu kintu nebiyitako omwa ka abaffe okubala beeyiyabyo ebalibwa kubeeyi yagavumenti oba kubeeyi eri kukatale?
Egerageranyizibwa kubeeyi eri kukatale mukiseera kyokuwa khumusu.
◘ Ekitundu kyettaka nannyinikyo yakigula musharia nakikozesa nayenga ettaka yaliwandikisa mumannya gamuntu mulala eranga kiyinzika eri omulala okumu jjako (nannyinilyo) musharia essaawa yonna gyayagala abaffe kimukakatako okujjamu khumusu kati oba okutuusa lwawandiikisa mumannyage?
Kimukakatako okujjamu khumusu katikati Singa liweza obulombolmbo obutaano obwayise okunyo nyola.
◘ Omusaala gavumenti gweewa omukozi omutuuze
Omwewogomi- oba akolanga atudde abaffe kimuka katako okujjamu khumusu wazifunira wennyini oba okutuusa nga kuyiseeko omwaka?
Ebifisseeko byajjamu khumusu nga omwaka guyise.
◘ Bwenzijamu khumusu ani gwenziwa?
Khumusu elimu ebitundu bibiri ekitundu kya lmamu muhammadi muntadhiri (a.s.) kikozesebwa mubintu ebisi imisa imamu okukozesa mubyo era nga kukkirizibwa na marijaa omumanyi ategeera empuyi zonna, oba zimu weebwa yemwennyini ate ekitundu ekirala kiwe bwa baavu ne baamasiikini nabatambuze abaana be njira abahashimi abakkiriza nabwekityo mubaavu nga bamulekwa abakkiriza mwemuli abakolera kubibakakatako muddiini yaabwe entereevu
Abahashimi agendereramu abeeguusa kusaidi ya taata wabwe eri Hashimi Jajja wa Nnabbi owekitiibwa MUHAMMADI (S.A.).
Byebyo, ate tekikkirizibwa kuwa khumusu eri oyo aliisibwa nenanyini kuwa khumusu nannyini maali nga taata oba maama, omukyala, omwana, nga bwe kitasaana kuwaayo khumusu eri oyo azikozesa muharaamu, wabula kyetagisa mukuziwa okubeera nti temuli kuyamba kukwonoono newankubaddenga sikukozesa muharaamu, nga bwekitasaana kuziwa mulesi wasswala oba munjwi wamwenge oba eyeyoleka nobwononefu.